Jessica Alupo kyadaaki atuuse ku Freedom City era ng'ayaniriziddwa Minisita avunaanyibwa ku Kampala n'emiriraano-Hajjati Minsa Kabanda, n'amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga -Maj.Gen. Geoffrey Katsigazi, ng'ali wamu n'omubaka wa Pulezidenti mu disituliki y'e Wakiso Justine Mbabazi, n'omumyukawe Michael Muhoozi atwala ekitundu kya Makindye Ssaabagabo.
Jesca Alupo ng'ayingira ekizimbe kya Freedom City
Bano n'abalala okubadde mmeeya wa Makindye Ssaabagabo -Geoffrey Ssemwanga Kabuzi, omumyukawe -Moses Kanaala, Mmeeya wa Divisoni y'e Masajja-John Baptist Kiyaga, aduumira Poliisi mu Kampala n'emiriraano -Stephen Tanui, beesozze akafubo ne Alupo akatakkiriziddwamu bannamawulire.