OMULIRO ogugambibwa okuva ku masannyalaze gusaanyizaawo emmaali y’abasuubuzi mu Bbiina C e Butabika abaayo nebakukkulumira poliisi ezikiriza omuliro okulwangawo akutuuka okuzikiza omuliro oguba kubaluseewo olwo emaali yabwe yonna n’esaanawo.
Omuliro guno ogwakutte ku ssaawa 9 ez’olweggulo lwa Mande gwavudde ku b’amasannyalaze abaabadde batikkula emiti ku mmotoka mu kitundu kino nga gino gyakoonye waya nezegatta okyaleetedde transformer okubaluka olwo omuliro negutandika okwaka.
Abazinya mwoto nga bagezaako okuzikiza omuliro
Kyokka poliisi ezikiriza omuliro bw’etuuse esoose n’esanga akaseera akazibu abatuuze bwebabataamidde nga babalumiriza okulwawo okutuuka ekiviiriddeko emaali y’abantu okwonooneka ennyo.
Hajjat Mariat Nampijja ategezezza nti ekifo kino ekikutte omuliro kibaddeko ebajjiro, ekifo webokyera ebyuma, edduuka ly’amasigiri n’amaseppiki wamu n’eduuka eritunda ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo nga byonna byasirisse
Nampijja awanjagidde gavumenti bulijjo okuvaayo ku bantu ababeera bakoseddwa mu ngeri eya bigwatebiraze baduukirirwe nga om uku kawefube ow’okubadabulula okuddamu okutambuza emirimu gyabwe.
Aba Fire brigade nga bagezaako okutaasa
Asabye poliisi ezikiriza omuliro okuvaayo okwanguwanga okutasa abantu nga waguddewo enjega yonna kubanga kiyambako okutangira omuliro okusasaana.
Kansala w’ekitundu kino, Ibrahim Wandera asabye ab’amasannyalaze abavuddeko obuzibu buno okuvaayo baliyirire abantu abonooneddwa ebintu byabwe.
Asabye abakola ku masannyalaze bulijjo okusokanga okugaggyako singab babeera balina kyebagala okutereeza kibasobozese okukola emirimu gyabwe nga tebalina kyebonoonye.
Sipiika w’Egombolola ye Nakawa Godfrey Luyombya, ategezezza nga guno bweguli omulundi ogw’okubiri nga omuliro gukwata mu kitundu kino emaali y’abantu yonna n’esaanawo.
Ategezezza nga omuliro bwegutandituuse wano naye obuzibu buva ku kuba nga mukitundu temuliimu mmotoka zizikiza muliro nga n’eyo emu eriwo ku ddwaliro lye Butabika tesobola kumala yokka kubanga omuliro gubeera mungi.
Asabye abavunanyizibwa ku kuzikiza omuliro okuteekawo emmotoka ku buli gombolola kiyambeko nga omuliro bwegukwata guzikizibwa mu bwangu nga tegunayonoona nnyo.