NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo ebintu bya bukadde e Kireka A mu munisipaali y’e Kira.
Omuliro guno kigambibwa nti, gwavudde ku muntu eyabadde ayokya kasasiro emabega
w’ekibanda ky’entebe omuliro we gwavudde ne gw’okya ekibanda n’amayumba g’abantu 8 ne gasirikka.
Abatuuze baasanze akaseera akazibu okuzikiriza omuliro guno nga bakozesa amazzi okuva mu taapu ezaabadde okumpi n’omusenyu, ng’abazinyamwoto baagenze okutuuka ng’abatuuze bagulwanyeeko wabula ebintuebisinga nga bisirikkiddemu. Ssentebe w’ekyalo Kireka A, Mamba Mubiru yasiimye abatuuze abafuddeyo okuzikiriza
omuliro guno ogubadde gukyalanda kubanga we gubadde kifo kya nzigotta ng’amayumba gali wamu ng’ono asabye be kikwatako okudduukirira abatuuze bano kubanga abasinga bakomye nga beetaaga kuyambibwa. Hajji Norman Kaboggoza Ssemwanga ne Ssaalongo Peter Kazibwe abakulembeze mu Kira nga y’omu ku babaddewo ng’ono
asabye gavumenti okulaba nga poliisi y’e Kireka bagiwa ekimotoka ekizikiriza omuliro, kubanga kye bakozesa ky’e Bweyogerere