KIBIINA ya KACITA kiguddemu nabe abakulembeze baakyo mwe bafunye obuttakaanya ku ani omutuufu ateekeddwa okukikulembera.
Entabwe evudde ku kugoba abadde ssentebe waakyo,Thadius Musoke Nagenda kuntandikwa ya wiiki eno naasikizibwa abadde omwoogezi waakyo,Isah Ssekito.
Okukakasa kino,aba KACITA baafulumizza ekiwandiiko mu mukutu gwabwe ekyalaze nti Ssekito agenda kukola nga ssentebe waakyo okumala ebbanga lye bataalaze.
Bino olwaagudde mu ga Musoke naalaga obwenyamivu olwa kye yayise abakulembeze ba KACITA okumulyaamu olukwe.
“Eby’okungoba nabiwuliridde mu mawulire kyokka nga tulina enkola gye tubadde tweeyambisa nga waliwo ensonga enkulu gye twaagala okukolako,”bwatyo Musoke bwategeezeza ng’atuukiridde kunsonga z’obukulembeze bwa KACITA.
Agamba nti bulijjo obukulembeze bw’ekibiina kino buyita olukiiko olw’amangu bwe wabeerawo ensonga enkulu eyetaaga okukolwaako ne bakola okusalawo okw’awamu.Kyokka kino tekyaakoleddwa ku luno.
Yeebuuziza ensonga lwaki oluddwa lwa Ssekito lwasazeewo okumugoba nga terusoose kumuyita ng’omu ku bamemba abaweereza ekibiina ku mutendera ogwa waggulu.
Yeeyamye okuyita olukiiko olw’amangu(Extra Ordinary Meeting) boogere kunsonga lwaki basazeewo okumugoba mungeri emutyoboola n’obutagoberera mitendera mituufu.
Kyokka bwe yabuuziddwa agenda kuluyita ng’ani, nategeeza nti akyaali ssentebe wa KACITA okutuusa ng’olukiiko lutudde ne bamugyako mungeri entuufu bwe babeera nga ddala bamulinako ensonga.
Omu ku bamemba ataayagadde kumwatuukiriza linnya yalaze nti obukulembeze bwa KACITA bwatandika okufunamu enkenyera okuviira ddala eyali ssente w’ekibiina kino, omugenzi Evaresito Kayondo bwe yafa mubiseera bya COVID-19.
Okuva kw’olwo bamemba bagamba nti babadde banoonya omuntu omutuufu ow’okukikulembera kubanga Musoke bamulabamu ebituli omuli n’ebyookubeera ng’alina ebigendererwa by’ebyobufuzi bye batayagala mu kibiina kyaabwe. Era bwe yabiraze mu butongole kye buuddeko,basazeewo bamuwumuze agire ng’abimaliriza.