Aba Seeta High awaafudde owa S6 bawadde abazadde obukadde 6

POLIISI etandise okunoonyereza ku ngeri omuyizi w’essomero lya Seeta High, Mukono gye yafiiridde mu kidiba ekiwugirwamu ku ssomero. 

Aba Seeta High awaafudde owa S6 bawadde abazadde obukadde 6
By Hasifah Naava ne Racheal Nankya
Journalists @New Vision
#Seeta high #Kitalo! #Nsamba Kevin #Elishama

POLIISI etandise okunoonyereza ku ngeri omuyizi w’essomero lya Seeta High, Mukono gye yafiiridde mu kidiba ekiwugirwamu ku ssomero. 

Eyafudde ye Kevin Nsamba 21, ng’abadde asoma S6. Nsamba mutabani wa Nnaalongo Namakula Ssemwanga ne Ssaalongo Matia Ssemwanga, abatuuze ku kyalo Jjokolera mu Kasangati Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso.

Maama wa Nsamba eyasangiddwa awaka ku Lwokubiri nga bamutaddeko eccupa yalombozze engeri gye baafunyeemu amawulire g’okufa kwa mutabani waabwe.

Yattottodde nti; “Bankubidde essimu ku Ssande ekiro ku ssaawa 6:00 nga bambuuza oba omwana ali waka. Kino kyankubye wala okuba ng’ate omwana gwe nnaleka ku ssomero bambuuza gy’ali. 

Ku Mmande nakedde kukuba ku ssomero ne mbabuuza oba omwana baamulabye ne bang’amba nti tebannamulaba, kwe kusalawo ne ng’endayo. Embeera gye nasanze ku ssomero yankanze nnyo nga poliisi n’amagye bajjudde mu kifo.

Fr. Edward Ssonko Okuva Mu Kigo Kya St. Matia Mulumba Jjokolera, Eyakulembeddemu Ekitambiro Ky’emmisa Eyategekeddwa Okusabira Omwoyo Gwa Nsamba

Fr. Edward Ssonko Okuva Mu Kigo Kya St. Matia Mulumba Jjokolera, Eyakulembeddemu Ekitambiro Ky’emmisa Eyategekeddwa Okusabira Omwoyo Gwa Nsamba

Nnasanzeewo n’abazadde abalala wabula nga buli gwe mbuuza ekigenda mu maaso anneebalama.

Oluvannyuma bantutte awali ekidiba ekiwugirwamu ne ndaba nga bannyulula omulambo gw’omwana wange!” Bwatyo Namakula bwe yalombojjedde abakungubazi abaabadde mu lumbe olwakumiddwa mu maka ge ku Lwokubiri.

Abamu Ku Bakungubazi Abaabadde Mu Misa Y'okusabira Omugenzi

Abamu Ku Bakungubazi Abaabadde Mu Misa Y'okusabira Omugenzi

YASOOSE KUSAMBA MUPIIRA
Okusinziira ku sitetimenti poliisi ze yaggye ku bayizi abaasemba okubeera ne Nsamba baagambye nti baabadde basamba naye omupiira wabula ku ssaawa nga 11:30 ez’olweggulo n’abagamba nti awulira ebbugumu.

Yaggyeemu omujoozi omumyufu gwe yabadde ayambadde n’agenda ku kidiba ekiwugirwamu okuwuga. Mu kiseera ekyo, ekidiba kyabaddemu abayizi abawerako nga n’abamu baabadde babayigiriza kuwuga.

Obudde olwazibye bayizi banne b’abadde asula nabo bwe bataamulabye mu buliri ne basooka balowooza nti osanga ali mu kibiina asoma, wabula bwe baamunoonyezza nga tebamulaba kwe kutegeeza abakulu ne batandika okunoonya naye n’abula.

Bagguddewo omusango ku poliisi y’e Seeta era ku Mmande, poliisi y’e Seeta nga yeegattiddwaako ey’e Mukono baakedde ku ssomero okunoonya Nsamba okutuusa bwe baamusanze mu kidiba ekiwugirwamu nga mufu.

Abamu Ku Bakungubazi Abaabadde Mu Misa Y'okusabira Omugenzi

Abamu Ku Bakungubazi Abaabadde Mu Misa Y'okusabira Omugenzi

POLIISI EKUTTE AVUNAANYIZIBWA KU KIDIBA
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti bakutte avunaanyizibwa ku kulabirira ekidiba omwafiiridde omuyizi ayambe mu kunoonyereza.

Yagasseeko nti, okusinziira ku bye baakazuula avunaanyizibwa yabaddewo ng’abayizi bawuga kyokka n’atatwala buvunaanyizibwa kubalondoola nga omulimu gwe bw’alina okugukola.

Yagambye nti mu kiseera kino balinda lipoota okuva mu ddwaaliro e Mulago gye baatutte omulambo okugwekebejja. Omusawo wa poliisi, Dr. Moses Byaruhanga eyagambye nti baamukwano ne taata wa Nsamba yategeezezza Bukedde nti y’omu ku baagenze ne Ssemwanga ku ssomero okuzuula ekituufu ekyaviiriddeko omwana okufa.

Yagambye nti, kirabika omwana yali teyakaza bulungi kuwuga ate banne be yabadde nabo nga buli omu ali ku lulwe ne batasobola kumuyamba.

Ku Mmande akawungeezi, abamu ku bakulira essomero baagezezzaako okutuuka mu maka ga bazadde ba Nsamba e Jjokolera wabula abakungubazi ne babagobaganya nga babalanga okulagajjalira omwana waabwe.

Omugenzi Nsamba

Omugenzi Nsamba

Ab’essomero baawaddeyo obukadde mukaaga okuyambako okuteekateeka okuziika ne bagamba nti baakutuula n’abazadde b’omugenzi balabe ekisingawo kye bayinza okukolera ffamire.

Omugenzi yazaalibwa nga August 12, 2007. Yasomera ku King David Jokolera gye yakolera P7 n’afuna obubonero 4. Yeegatta ku Seeta High Main campus, gye yatuulira S4 n’aguna obubonero 8 era abadde ku bbasale. 

Abadde abuzaayo emyezi esatu okutuula ebigezo bya S6. Waakuziikibwa leero ku Lwokusatu e Lwampalampa Kaddugala Masaka.

Nsamba muyizi waakubiri okufiira ku ssomero lino. Ku ntandikwa y’omwaka mu mwezi gwa February omuyizi Elishama Ssesaazi 16, eyali asoma S3 yasangibwa afiiridde mu kisulo.

Abazadde baggulawo omusango ku poliisi e Mukono oguli ku ffayiro nnamba SD 04/21/12/2025.