Abasuubuzi b'omu katale 19 bafiiridde mu kabenje ka Fuso egudde ne yeefuula nga bava okukola

Akabenje kagudde kumpi n'essomero lya Hillside SS Kigorobya ku Hoima - Buliisa Rd, loole Fuso kwe babadde batambulira nga bava mu katale ka Buliisa Auction Market bw'egudde ne yeefuula ku ssaawa nga ttaano ekiro.

Abasuubuzi b'omu katale 19 bafiiridde mu kabenje ka Fuso egudde ne yeefuula nga bava okukola
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kabenje #Kufa #Katale #Mu buulo #Basuubuzi

Kitalo! Abasuubuzi b'omu katale abawera 19 kigambibwa nti bafiiridde mu kabenje akagudde e Hoima n'abalala abawerako 13 ne batuusibwako ebisago.

Akabenje kagudde kumpi n'essomero lya Hillside SS Kigorobya ku Hoima - Buliisa Rd, loole Fuso kwe babadde batambulira nga bava mu katale ka Buliisa Auction Market bw'egudde ne yeefuula ku ssaawa nga ttaano ekiro.

Kigambibwa nti loole eno nnamba UBB 639 W eremereddwa okulinnya akasozi n'edda emabega n'egwa ne yeevulungula emirundi egiwerako.

Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Albertine, Julius Allan Hakiza agambye nti  emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Hoima ng'okunoonyereza bwe kukolebwa