Musumba Kayanja awaddeyo obugaali buyambeko mu kutambuza eddagala ly'akawuka ka siriimu mu byalo

OMUSUMBA w’e kkanisa ya Miracle Centre Cathedral Lubaga, Robert Kayanja, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’omulimu gw’aliko ogw’okulwanisa Siriimu mu ggwanga nti akoze kyamaanyi okusomesa abantu ssaako okubamanyisa ku bikwatata n’okwetangira mukenenya.

Musumba Kayanja ng'awaayo obugaali
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision

OMUSUMBA w’e kkanisa ya Miracle Centre Cathedral Lubaga, Robert Kayanja, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’omulimu gw’aliko ogw’okulwanisa Siriimu mu ggwanga nti akoze kyamaanyi okusomesa abantu ssaako okubamanyisa ku bikwatata n’okwetangira mukenenya.

Kayanja yabyogeredde ku kkanisa ye ng’akwasa ab’ekitongole kya Ssese Island Aids African Project ‘SIAAP’ eggaali zi maanyi ga kifuba 15 okubayambako mu kutambuza eddagala lya siriimu n’ebikosebwa okumwetangira ku bizinga by’e Ssese.

Ekitongole kino kyatandikibwawo munnamaje wa America munnayuganda asibuka e Ssese, Lt. Col. Frank Musisi Mugerwa n’ekigendererwa ky’okulwanisa ssiriimu ku bizinga ng’ayita mu kubunyisa enjiri y’okumwewala wamu n’okuyambako okudduukirira ab’ebizinga n’eddagala eriweweeza.

Kayanja yagambye nti, “wadde eddagala mu ddwaliro gyeriri naye kibeera kizibu okulitambuza okulitwala mu bantu gye bali kati eno ye ngeri yokka gye tulina okulitambuza nga tukozesa eggaali kuba tekigasa okubeera mu sitoowa ng’abalyetaaga bafa’’.

Yasabye bannayuganda abalina obusobozi okusitukiramu okuyamba ku bitongole eby’enjawulo ebivuddeyo okufufuggaza siriimu kuba abazungu batuyambyeko ekimala.

Musumba Kayanja ng'awaayo obugaali

Musumba Kayanja ng'awaayo obugaali

‘’Akawuka okubeera nga keeyongedde naddala mu bizinga, obuzibu bubadde nti tusizza engabo wansi kuba ebiseera eby’emabega twali tugezezzezaako nga Pulezidenti Museveni ataddewo ekibiina ekirwanisa siriimu’’.

“Baatuyita nga bannaddiini era omugenzi Misaeri Kauma eyali omulabirizi w’e Namirembe ye yali ssentebe w’olukiiko olulwanyisa siriimu ng’omulimu omukulu gwa ABC ky’oyinza okuvvunula ng’okwewala eby’okwegatta nga tonnatuuka, okunywerera ku mwagalawa wo wamu n’okukokozesa obupiira”. Kayanja bwe yagambye.

Wano we yasabidde bannaddiini okuvaayo okukyogerangako mu kkanisa, klezia n’emizikiti okutaasa bannayuganda. Yasabye n’amasomero okuzzaawo enkola y’okubangula abayizi ku mukenenya, emikutu gy’empuliziganya nagyo okuvaayo bukuukuubira okubyogerako okutaasa ensi eno.

Yakubirizza abantu okwekebeza okumanya we bayimiridde ate n’obutasiiga abalala era n’awanjagira abatabulira obutasonga mu balala nnwe okubeetamya obulamu.

Lt. Col. Frank Musisi Mugerwa omutandisi wa SIAAP, yategeezezza nti obulwadde bwa siriimu bwa ddala era gye buli kyokka n’agamba nti okwetangira kusinga okuwonya ye nsonga lwaki baatandika ekibiina kino okugezaako okuziyiza obulwadde buno mu bizinga by’e Ssese awagambibwa okuba nga gye businga okwegiriisiza.

Yasabye abantu okwekebeza kuba bw’otamanya bw’oyimiridde ki kufuula omulagajjavu ku bulamu bwo. Yeeyamye okukolera awamu n’abasawo b’okubyalo okutambuza eddagala lya siriimu n’ebikozesebwa okumwetangira ng’obupiira nga beeyambisa obugaali buno obubaweereddwa.

Yeebazizza Paasita Kayanja olw’omutima omudduukirize eri abantu b’okubizinga kyokka n’awanjagira n’abalala abalina obusobozi okubakwatizaako okusobola okulinnya siriimu ku nfeete nga Kabaka bwe yalangirira bwe gunaatuukira omwaka 2030 nga lufumo.

Yasabye n’abakulembeze abalala eb’ennono mu bintu gye bali okulaba ng’omulimu gw’okulwanyisa siriimu bagutwala ng’ekikulu okulaba nga mukenenya aggwawo mu