POLIISI y'e Luweero ekutte asoma obusawo abadde mu kugezesebwa mu ddwaliro e Kasana agambibwa okusaba enguzi ya 250,000/ ku b'enganda b'omulwadde eyazze okuzaala alyoke amukwateko.
Poliisi ng'ennyonnyola
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
POLIISI y'e Luweero ekutte asoma obusawo abadde mu kugezesebwa mu ddwaliro e Kasana agambibwa okusaba enguzi ya 250,000/ ku b'enganda b'omulwadde eyazze okuzaala alyoke amukwateko.
Kino kyaddiridde ab'enganda ssente okubeekubya empi era wakati mu kusaala entotto bokuzifuna we baagwiridde ku muzirakisa eyabakwasozxa abakolaku kulwanyisa enguz n'abakulira eddwaliro lino ne batega omusawo ne bamuyoola nga yakakwasibwa ensimbi zino.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti omukwate atemeza mabega wa mitayimbwa ku poliisi e Luweero nga bwe banoonyereza.
Poliisi egumizza abatuuze nti egenda kwongera amaanyi mu kufefetta abali b'enguzi mu bitongole bya gavumenti kuba bazingamya empeereza y'emirimu.
Abatuuze bagamba nti omuze gw'okusaba ssente abakyala ababeera bazze okuzaala be baana baliwo mu ddwaliro lino era nti abeera yagudde kasawo bamutunuulira kyamuli oba okumulagira agezeeko mu ddwaliro eddala ne n'asiima abaakutte omusawo ono.