Omuliro gukutte ekisulo ebintu bya bayizi ne bibengeya

Poliisi e Njeru eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro ogwakutte ekisulo ky'essomero, ebintu ebiwerako ne bibengeya.

Omuliro gukutte ekisulo ebintu bya bayizi ne bibengeya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Muliro #Kukwata #Kisulo #Bayizi

Poliisi e Njeru eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro ogwakutte ekisulo ky'essomero, ebintu ebiwerako ne bibengeya.

Omuliro guno , gubadde ku ssomero lya Cardinal Nsubuga S .S mu Nyenga e Njeru mu Buikwe , bwe gukutte ebisulo bya S1 ne S2 ebintu ne biggya.

Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa Hellen Butoto, agambye nti waliwo ebintu ebiwerako ebizuuliddwa omuli ebisiriiza bya ppaasi z'amanda bbiri, ebibiriiti n'ebirala.

Agasseeko nti , bakyanoonyereza okuzuula oyo yenna ayinza okuba emabega w'omuliro guno, oguyinza okuba nga gukoleezeddwa.