OMULANGIRA w’essaza ly’e Kigulu e Iganga erimu ku masaza 11 agakola Obwakyabazinga, Rtd Col. Chris Mudoola alonze baminisita 24 b’agenda okukola nabo mu bukulembeze.
Mudoola yakakasibwa Obwakyabazinga ku ntebe eno mu March w’omwaka guno oluvannyuma lw’okusika omuguwa okw’amaanyi okwaliwo mu Balangira ab’enjawulo abaali beegwanyiza entebe oluvannyuma lw’okufa kw’Omulangira Patrick Izimba Gologolo.
Yalonze Noah Wakabi nga katuukiro ng’ono era yaabadde katuukiro ku mulembe gwa Gologolo, amyukibwa David Batema Waiswa eyaliko ssentebe w’olukiiko olugaba emirimu mu disitulikiti y’e Iganga.
Abalala kuliko: Amina Kagoya amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM e Iganga. Ono yamulonze ku kifo ky’ekikula ky’abantu, Hudaya Mwiiko (byabulamu), Herbert Kisaame (byanjigiriza), Ibrahim Kitawurwa (byamawulire), Ying. Ssegonga (byansimbi) n’abalala.