AKULIRA ekitongole kya KCCA Hajjati Sharifa Buzeki agenze mu katale e Busega naaawa ekiragiro ku bafuna amaduuka wabula nga tebagakoleramu nti bolekedde okugafiirwa.
Kino kidiridde okulambula akatale kano mu ntekateeka ya ‘weyonje’ násanga nga amaduuka agasinga masibe n'abuuza abaddukanya akatale kano lwaki guli bweguti ne bamutegeeza nga bwewaliwo abagafuna wabula ne basalawo okugasiba.
Kv 2
Buzeki eyabadde nómumyuka we Benon Kigenyi akulira ebyóbulamu Dr Sarah Zalwango yasoose kubuuza abasuubuzi beyasanze nga bakolera mu nkuubo oba bawandiisibwa ne bamutegeeza nga bwebatanaba kwekubuuza addukanaya akatale (Market Master) Venansio Natuhwera lwaaki tebawandikibwa ne baweebwa emidaala oba amaduuka.Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabiine yagambye nti KCCA egenda kusisinkana abakolera mu katale kano ku Lwokubiri okusobola kutunula mu nsonga zaabo abafuna amaduuka kyokka nga tebakoleramu nga bawereddwa emyezi 3 .