Kampeyini za Kamyufu ka NRM zitandise na bbugumu

BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti ye Wakiso abegwanyiza ebifo by’obubaka bwa paalamenti batongozza kampeyini z’akamyufu k’ekibiina nebawera okusigukulula ababaka abatali ba NRM mukulonda kwa 2026.

Hajji kiyimba ne banne nga basala omuziki
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti ye Wakiso abegwanyiza ebifo by’obubaka bwa paalamenti batongozza kampeyini z’akamyufu k’ekibiina nebawera okusigukulula ababaka abatali ba NRM mukulonda kwa 2026.
Kampeyini zino baazitongolezza ku ofiisi za ssentebe wa Wakiso Town Council, Fredson Mukalazi Kasiiwukira nebawera okweddiza Wakiso eyali yatwalibwa ababaka bbo bebagamba nti tebayambye kutuusa bizibu by’abantu eri bekikwatako.
Andrew Kiryowa eyegwanyiza eky’obubaka bwa Busiro East mu paalamenti, yagambye nti ekitundu tekifunye bulungi mpereza nnungi olw’okuba ababaka bebasindikayo tebali ku ludda lumu na lwa Gavumenti ya NRM nga yensonga lwaki avuddeyo avuganye.
“Ndi munnamateeka omutendeke ate nga ndi mwana nzalwa yamukitundu wano e Bulenga-Kikaaya. Ebizibu ebituluma siguddemu bigwe wabula nkuze mbilaba era ababaka ababadde balondebwa nga tebalina kye babikola wadde nange kwe kwesitula nveeyo nvuganye.” Kiryowa bweyayongeddeko.
Yagambye nti agenda kukwata nnyo ku mbeera z’abavubuka omuli ensonga y’emirimu, okufuna obwenkanya nebintu ebirara bye yagambye nti biretedde bangi okudda ku ludda oluvuganya Gavumenti ate ekibiina kya NRM nekitafunamu.
Yabadde yakamaliriza okwogera, ne Haaj Abdul Kiyimba eyegwanyiza ekifo kino nawebwa akazindaalo okwogerako eri banna NRM abaabadde bakunganye mubungi, kyokka ekibinja ekyaabadde kiwerekeddeko Kiryowa nekitandika okuyimbira waggulu ssaako okufuuwa vuvuzela mu nnyimba eziwaana Kiryowa.
Kiyimba eyabadde asituse okwogera, yasoose nadda muntebe era kyatutte eddakiika nga 20 olwo naye natuusa ebigambi bye wakati mubantu abaabadde bamukubira enduulu ssaako okugama ebigambo nti “Kiyimba ayimbe”.
Yasoose kutegeeza nti wadde ekibiina kyaabasabye bakubire wamu kampeyini nga bbo abavuganya, ku ludda lwe tekijja kuba bwekityo kuba nti wadde asobola entalo, tajja kukikola olw’okuba abamuvuganya bazitandise.
“Mbadde ngenda kwogera nebatekawo embeera eno omuli n’okujjako amasannyalaze, entalo nze nzisobola era abo abanvuganya teri azinsinga, naye sijja kuzikola okureka okutuusa obubaka bwange eri abanvuganya.” Kiyimba bweyayongeddeko.
Yategezezza nga bwagwnda okulaba nga Busiro East efuuka ekitundu buli omu kye yegomba ate n’abantu ababeramu bagyenyumirizeemu kuba wadde constituency eri mukibuga, naye abagikulembera bagifudde ey’ekyalo.
Rose Kirabira (eyali RDC) nga yegwanyiza kifo ky’omubaka omukyala owa Wakiso, yategezezza nti enkwe mu kibiina, okulonda ababaka abatakwatagana na pulezidenti Museveni, obutasembeza bavubuka kubagazisa kibiina n’okutekawo entalo kyekimu ku bireese ebifo ebimu NRM okubifirwa.
Yagambye nti mumalirivu nti agenda kuwangula akamyufu era nalabula ab’ebibiina ebirara abagenda okumuvuganya nti baandibade babireka kuba ekiseera kye yabeera RDC wa Wakiso yalaba ebizibu bingi nnyo nga bino byagenda okutekako essira.
Ssentebe Mukalazi yasabye bannakibiina obutagezaako kutekawo ntalo  kye yagambye nti kikomekkereza kiyambye ba ludda luvuganya ng’akamyufu kawedde, kuba olusii kagenda okuggwa nga beyuzayuzizza.
Yagambye nti wadde mubitundu ebimu wabaddewo okwerekera, e Wakiso baasazeewo babbinkane olwo bammemba gwe banaaba balonze akikirire ekibiina, ate gwe bawangudde akwate abalonzi be bawagire ayiseemu mukalulu ka bonna.