Gutwaliddwako nekussomero Lya Sebei college erimanyiddwa okubangula abaddusi abaamanya okuli Moses kipsiro ne Steven kiprotich era nga eno abamu ku bayizi baweereddwa omukisa okugukwatako.
Kapchorwa
Omutendesi wa tiimu yeggwanga eyemisinde Benjamin Njia atenderezza aba UOC okubatwalira omumuli gwagambye nti gwakwongera abaddusi abaamanyi mu nteekateeka zaabwe ezemizannyo gya commonwealth omwaka ogujja.
Bweguvudde wano bagututteko neku kifo awatendekerwa abaddusi ekya high altitude training center ekisangibwa e Teryet.
Olunaku olwenkya gwakutwalibwa mu bawuzi ate ku bbalaza gutwalibwe mu maka gomukulembeze we ggwanga.