BASUUBUZI bakolera ku kizimbe ya Naiga Chambers ekyÓmugagga Drake Lubega ku Ben Kiwnuka Street kyeyagula ku John Ssebalamu bavudde mu mbeera ne baggala amaduuka gaabwe ng'éntabwe eva kubongeza ssente zóbupangisa.
Bano bakedde ku Lwokutaano ne baggala amaduuka gaabwe nga bagamba nti omugagga Lubega yabogezza ekisusse bwogerarenayan n'éssente zebabadde basasula era nga yabalagidde okutandika okusasula nómwezi ogwa July.
Bano basoose kukunagira ku kizimbe kwebakolera ne begeyamu oluvanyua ne basalawo okugenda ku ofiisi zÓmugagga Lubega basobole okumusisinkana ku nsonga yókubongeza wabula bwe batuuse ne bakabatema nti yabadde taliwo.
Gerald Kitayimbwa omu kubakolera ku kizimbe kino yagambye nti Omugagga Lubega yabongezezza ekisusse nga ebisale tebigerekeddwa bulungi nga abamu yabongezza eduuka okuva ku mitwalo 70 nókutuuka ku bukadde 2 songa omwaka oguwedde abadde yakabongeza ebitundu 10%.