EKISAAKAATE Kya Nnaabagereka eky'abaana abasomera ku Kalenda y'amassomero agali ku ddaala ly'ensi kitandise.
Kino Kiri ku Kabojja International School e Buziga, mu Divizoni ye Makindye mu Kampala nga kyakuyinda okuva July 3,2025 okutuusa nga July 12,2025.
Omumyuka w'Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa era Omutandiisi w'essomero lino yeebazizza Nnaabagereka olw'enteekateeka y'ekisaakaate kyayogeddeko ng'ekigendererwamu okusiga empisa mu baana b'eggwanga.
Hajj Lwasa bwatyo asabye abazadde okwetanira enteekateeka nga zino ezibayambako Okulambika abaana mu buwangwa bwaabwe naddala ku mulembe guno ogwa tekinologiya.
Sam Tulya nga y'akulira emirimu ku ssomero lino yeebazizza Nnaabagereka olw'okubawa okukyaaza ekisaakaate ky'omulundi guno n'akunga abazadde abatanatuusa baana baabwe banguweko, balemwe kusubwa mukisa guno.
Ye Ssabagunjuzi w'Ekisaakaate kino, Dr. Rashid Lukwago agambye ekisaakaate nteekateeka nnungi eyambye okugunjula Bannayuganda n'ayongerako nti kirimu emigaso mingi okuli okuyigiriza abaana okuyiga eby'emikono, okuyiga okukola emikwano n'ebirala.
Mariam Nagawa omuzadde avudde e Kkungu- Kulambiro aleese abaana babiri mu kisaakaate kino n'agamba nti abadde tasobola kusubwa mukisa guno kubanga ayagala abaana be okuyiga ebikwata ku buwangwa bwaabwe.
Aleena Kirabo Mulema, omu ku bato abeetabye mu kisaakaate alaze essanyu olwa bakadde be okuleeta ng'agenda kukola emikwano ate n'okuyiga emirimu egikolebwa awaka.
Kino Kisaakaate Kya mulundi gwa kuna mu nteekateeka eno nga kibumbujjira wansi w'Omulamwa ogugamba nti " Okukwanaganya Tekinologiya n'Obuwangwa".
Nnaabagereka ategeka ebisaakaate eby'enjawulo okuli ekiyitibwa Gatonya nga kibeerawo ku buli ntandikwa ya Mwaka, mu Masaza ate nebibeera e Bulaaya ne Amerika.