Omulambo ogunnyuluddwa mu nnyanja ya Kabaka gukubaganyizza abantu empawa

ABATUUZE b’omu Ndeeba  bakubaganye empawa ku mulambo ogunnyuluddwa mu Nyanja ya Kabaka ettuntu lya leero,  ng’abamu bagamba yeesuddemu  ate abalala nti bamutemudde ne basuulamu mulambo.Kiddiridde okuzuula  omulambo gw’omuvubuka atemera mu gy’obukulu nga 30 nga tamanyiddwa mu kitundu,  emisana ga leero nga gutenmgejjera ku mazzi, ne batemya ku poliisi y’e Katwe ezze n’egunnyululamu ng’eyambibwako abatuuze ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.     

Nga baggyeeyo omulambo mu Nnyanja
By Vivien Nakitende
Journalists @New Vision

ABATUUZE b’omu Ndeeba  bakubaganye empawa ku mulambo ogunnyuluddwa mu Nyanja ya Kabaka ettuntu lya leero,  ng’abamu bagamba yeesuddemu  ate abalala nti bamutemudde ne basuulamu mulambo.

Nga baggyawo omulambo

Nga baggyawo omulambo


Kiddiridde okuzuula  omulambo gw’omuvubuka atemera mu gy’obukulu nga 30 nga tamanyiddwa mu kitundu,  emisana ga leero nga gutenmgejjera ku mazzi, ne batemya ku poliisi y’e Katwe ezze n’egunnyululamu ng’eyambibwako abatuuze ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.
Abatuuze  abamu bagamba nti,  omugenzi  yandiba nga yatemuddwa,  ne baleeta mulambo ne bagusuula mu Nyanja, kubanga tegubaddeeko kiwundu ate nga teguzimbye lubuto nga bwegutera okubeera  ku bantu abeesuula mu Nyanja.
Ate abalala bagamba nti,  yandiba nga yeeyeesuddemu kubanga , emikono gye gibadde giraga nti yagezezzaako okulwanagana n’amazzi ekitatera kubeera ku bantu beebasse,   kuba bbo basuulamu mirambo egitasobola kwerwanako.

Abantu nga batunuulira omulambo

Abantu nga batunuulira omulambo


Ssentebe wa zooni ya Spire eriraanye ennyanja ya Kabaka, Ibrahim Nsubuga agambye nti, abantu abeesuula mu Nyanja eno babadde baakendeera okuva Mengo bweyatandika okugikulaakulanya, nti  guno mulambo gwakubiri okunnyululwamu  bukya mwaka gutandika, kyagambye nti kitono nnyo bwogeraageranya n’emabega nga tebanatandika kugikulaakulanya.

Kl 1

Kl 1


Abatuuze basabye gavumenti y’e Mengo okubayamba okuteekawo abakuumi  abasula nga bakuuma ennyanja , okuteekawo kkamera n’okugitaayiza n’akataimba , kubanga kuliko ekkubo eriyitako ebidduka, abaana bazannyirako,  kyangu omuntu okuseerera n’agwamu mu butanwa.