ABATUUZE b’omu Ndeeba bakubaganye empawa ku mulambo ogunnyuluddwa mu Nyanja ya Kabaka ettuntu lya leero, ng’abamu bagamba yeesuddemu ate abalala nti bamutemudde ne basuulamu mulambo.

Nga baggyawo omulambo
Kiddiridde okuzuula omulambo gw’omuvubuka atemera mu gy’obukulu nga 30 nga tamanyiddwa mu kitundu, emisana ga leero nga gutenmgejjera ku mazzi, ne batemya ku poliisi y’e Katwe ezze n’egunnyululamu ng’eyambibwako abatuuze ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.Abatuuze abamu bagamba nti, omugenzi yandiba nga yatemuddwa, ne baleeta mulambo ne bagusuula mu Nyanja, kubanga tegubaddeeko kiwundu ate nga teguzimbye lubuto nga bwegutera okubeera ku bantu abeesuula mu Nyanja.
Ate abalala bagamba nti, yandiba nga yeeyeesuddemu kubanga , emikono gye gibadde giraga nti yagezezzaako okulwanagana n’amazzi ekitatera kubeera ku bantu beebasse, kuba bbo basuulamu mirambo egitasobola kwerwanako.

Abantu nga batunuulira omulambo
Ssentebe wa zooni ya Spire eriraanye ennyanja ya Kabaka, Ibrahim Nsubuga agambye nti, abantu abeesuula mu Nyanja eno babadde baakendeera okuva Mengo bweyatandika okugikulaakulanya, nti guno mulambo gwakubiri okunnyululwamu bukya mwaka gutandika, kyagambye nti kitono nnyo bwogeraageranya n’emabega nga tebanatandika kugikulaakulanya.

Kl 1
Abatuuze basabye gavumenti y’e Mengo okubayamba okuteekawo abakuumi abasula nga bakuuma ennyanja , okuteekawo kkamera n’okugitaayiza n’akataimba , kubanga kuliko ekkubo eriyitako ebidduka, abaana bazannyirako, kyangu omuntu okuseerera n’agwamu mu butanwa.