Ronald Mushabe 26, omugoba wa bodaboda ku siteegi e Nakasero, ye yawakanye ne banne bwe bavuga bbooda ne basibawo emitwalo 7 ne bakkaanya nti bw’awuga ennyanja eno n’agimalako oba okugiwugako ekitundu n’akyetooloola ng’azirya.
Ppikippiki Ya Mushabe Gye Yalese Ku Mabbali G'ennyanja N'engoye Ze Yaggyeemu N'engatto
Byabaddewo ku Lwokuku lw’okubiri, okukkakkana abavubuka bana okwabadde n’omugenzi Mushabe, baakutte pikipiki zaabwe ne bavuga okutuuka ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba okumalawo empaka.
omugenzi yalemeddeko nti ye okuwuga ennyanja eno okugimalako kiringa kuyisa mazzi mu kisero, olwatuseewo omugenzi yabadde ayogeza maanyi, nga bwabateegeeza nti ezo amaze okuzirya.
Balubbira Nga Banoonya Omulambo Ku Nnyanja.
Yeeyambudde n’akkirira mu mazzi n’atandika okuwuga, byasoose kutambula bulungi n’awuga n’atuuka wakati, olwo n’awuga okwetooloola nga bwadda ku ludda lwa wooteeri ya Pope Paul.
Wabula mu kukomawo, yalemereddwa, era abali ku lukalu baagenze okulaba ng’atandika okubbira nga bw’awanika emikono waggulu, yabadde mu mazzi wakati nga teri asobola kugendayo kumutaasa, nga n’abavuga amaato tebaliiwo akaseera ako, baagenze okutuuka nga kikeerezi nga yafudde dda.
Omugenzi Ronald Mushabe, Eyafiiridde Mu Nnyanja.
Ababbooda banne bakira bino bigenda mu maaso nga bakwata obutambi ku masimu gaabwe, olwalabye nti abbidde, buli omu yakutte pikipiki ye ne bavuga ne badduka.
Ppiki y’omugenzi Bajaj UFT 982S n’essimu ye wamu n’engoye bye yabadde ye yambudde ne bisigala.
Ali Mukasa, omu ku bakolera okumpi n’ennyanja eno agamba nti, Omugenzi yasooose kumubuuza wa awali ebitosi mu nnyanja? nange kwe kumuddamu ng’asaaga nti “genda ofiire eri, ennyanja nayo bagiwakaniramu?”
Namwandu Shamim Jonnis Ku Kkono, Nga Bimusobedde Oluvannyuma Lw'okutuuka Ku Nnyanja Ya Kabaka Bba Mweyafiiridde, Wakati Ye Julius Gwaivu Akulira Ebikwekweto Ku Poliisi Y'e Katwe.
Waayise akaseera katono n’aggyamu engoye ne yeesogga ennyanja, yasoose kuwuga bulungi n’atuuka awala, n’akyuka okwetooloola, oludda olulala, mu kukomawo n’atandika okubbira, naye yabadde wala nga teri ayinza kumutaasa.
Mukasa ayongerako nti baayise abavuga amaato ku nnyanja, baagenze okutuuka ng’amaze okufiiramu ng’abbidde ali wansi. Omugenzi alese bbebi atannaweza mwaka, babadde babeera Nansana naye ng’ennaku z’okukola asula Makindye mukyala we w’akolera.
Omulambo Gw'owabbooda Nga Gulegamye Ku Mazzi Ku Ngulu.
Poliisi y’e Ndeeba nga yeegattiddwaako ey’e Katwe zituuse ku nnyanja ne balubbira ne beesogga ennyanja ne banoonya omulambo ne gusooka ne gubabula.
Olwo abavugira amaato ku nnyanja eno ne basaba okugunoonya, oluzibakwasizza ne batandika omuyiggo, naye nabo ne gubula, ne bategeeza nti bagenda kuguwamu obudde gusooke guwewuke gudde ku ngulu.
Oluvannyuma balubbira bamaze ne badda mu nnyanja omulambo ne baguzuula.
Abamu Ku Baabaddewo Nga Beetegereza Mushabwe We Yafiiridde.