Omukazi eyatta omusajja eyali amukaka omukwano asibiddwa emyezi 22

Kkooti Enkulu ewadde omukazi ekibonerezo kyakusibwa emyezi 22 lwa kusogga kambe mu bulago bw'omusajja eyali agezaako omukaka omukwano n'amutta.

Aisha Birungi Nakajjongo
By Alice Namutebi
Journalists @New Vision
Kkooti Enkulu ewadde omukazi ekibonerezo kyakusibwa emyezi 22 lwa kusogga kambe mu bulago bw'omusajja eyali agezaako omukaka omukwano n'amutta.
 
Aisha Birungi Nakajjongo ow'e Busega omusango gw'okutta mu butanwa Ahmad Mugambe gwe gusinze.
 
Omulamuzi Margret Mutonyi agambye nti emyezi 22 gyamusibye gy'egyo gy'amaze ku limanda nga alinda omusango gwe okuwulirwa kubanga teyalina kigendererwa kyakutta wabula yali yeerwanako nga yeetaasa aleme kukwatibwa.
 
Omulamuzi agambye nti yadde ng'okutta kimenya mateeka naye mu mbeera eno omugenzi ye yeeretera okuttibwa kubanga singa yasiba empale ze ne zinywera teyandifudde ng'ekiseera kye tekinnatuuka.
 
Okusinziira ku bujulizi, omugenzi yali asuubizza Nakajjongo ssente. Mu kuzinona yasanga empale agiggyeemu ne batandika okulwana ng'amusika amukube ku buliri amukwate.
 
Mu kulwanagana Nakajjongo yakwata akambe n'akamusogga mu bulago n'avaamu omusaayi omuyitirivu era n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.
 
Omulamuzi Mutonyi agambye nti eryanyi eryali liwagga Mugambe lye lyamuviirako okufa kubanga singa teyagezaako kukwata Nakajjongo yandibadde akyali mulamu.