Omukazi by'olina okukolera omusajja baleme okumukubbako mu 2023

Joseph Ssentamu ow’e Mukono, omwaka oguwedde yajaguzza emyaka 50 nga bali mu bufumbo ne kabiite we Imelda Nantaba. Wiiki ewedde, abamu ku bafumbo b’e Ntebe baamukyazizza okwogerako gye bali mu musomo gwe baategese. Yasabye abakazi okukola ebintu bisatu byokka bwe baba baagala okuwangaaza abasajja baleme kuwankawanka.

Abafumbo
By Emmanuel SSebanenya
Journalists @New Vision

Joseph Ssentamu ow’e Mukono, omwaka oguwedde yajaguzza emyaka 50 nga bali mu bufumbo ne kabiite we Imelda Nantaba.

Wiiki ewedde, abamu ku bafumbo b’e Ntebe baamukyazizza okwogerako gye bali mu musomo gwe baategese. Yasabye abakazi okukola ebintu bisatu byokka bwe baba baagala okuwangaaza abasajja baleme kuwankawanka.

Mwabaddemu: Omukazi okuwa omusajja akaboozi akalungi kubanga kye kimu ku biruubirirwa by’obufumbo. Kyokka ono yawadde n’abasajja amagezi okufaayo okuwa bakyala baabwe obudde n’okubasanyusa bafune essanyu.

Omukazi okufumbira omwami we emmere ewooma. Ssentamu agamba nti ekimu ku bireetera abasajja okulya ebweru oba mu kyalo kiva ku bakyala baabwe okulemererwa okufumba emmere ewooma. Kyokka agamba nti n’abasajja balina obuvunaanyizibwa okugula emmere, enva n’ebigenderako okugifuula empoomu.

Emirembe mu maka: Ssentamu ayongerako nti omukazi awa bba emirembe abeera amuloze obwenzi anti abeera talina nsonga emujja waka okutaayaaya ku kyalo oba mu bibanda bya firimu n’omupiira. Agamba nti omukazi ayombayomba atama n’okubuza omusajja emirembe kyokka n’alabula n’abasajja obutakola bintu binyiiza bakyala baabwe.