Omukazi bba gw'akwatidde mu bwenzi amutemyetemye ng'amulanga okumusubya essanyu ly'abaddemu!

SSEMAKA akutte muganzi we n'omusiguze emisana ttuku mu kazigo kaabwe akiguddeko omukazi bw'amwefuulidde n'abaka ejjambiya n'amutemaatema

Omukazi bba gw'akwatidde mu bwenzi amutemyetemye ng'amulanga okumusubya essanyu ly'abaddemu!
By John Bosco Mulyowa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ssemaka #Bwenzi #Omukazi

Ssemaka akutte muganzi we n'omusiguze emisana ttuku mu kazigo kaabwe akiguddeko omukazi bw'amwefuulidde n'abaka ejjambiya n'amutemaatema ng'amulanga okumusubya essanyu ly'abaddemu!

Kalyango mu ddwaaliro e Kaliisizo.

Kalyango mu ddwaaliro e Kaliisizo.

Bino bibadde ku kyalo Kyamuyimbwa e Masaka, Ssemaka Joseph Kalyango 30 bw'akutte Muganzi we Mercy Katushabe Kiconco 26, n'omusiguze omulala, kyokka omusiguze amuyise mu nkwawa n'adduka olwo Kalyango n'asitula oluyombo ne Katushabe ekiddiridde Katushabe kukwata jjambiya n'amutemaatema Kalyango n'amwabuluzaamu oluba!

Katushabe eyatemyetemye bba.

Katushabe eyatemyetemye bba.

Kalyango addusiddwa mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kalisizo okufuna obujjanjabi ate Katushabe awondedde bba mu ddwaaliro gy'addusiddwa naye akwatiddwa poliisi y'e Kalisizo n'aggalirwa ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso!