Abawawaabirwa mu gw'okulebula paasita Kayanja batandise okwewozaako

ABAMU ku bawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Robert Kayanja owa Miracle Centre Cathedral e Labaga, beegaanyi enkolagana yaabwe n’abavubuka abagambibwa okubijweteka ku musumba nti, yabatuusaako ebikolwa ebimenya amateeka.

Abawawaabirwa mu gw'okulebula paasita Kayanja batandise okwewozaako
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Kayanja #Bawawaabirwa

ABAMU ku bawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Robert Kayanja owa Miracle Centre Cathedral e Labaga, beegaanyi enkolagana yaabwe n’abavubuka abagambibwa okubijweteka ku musumba nti, yabatuusaako ebikolwa ebimenya amateeka.

Abawawabirwa mwenda; Moses Ssemanobe, Alex Wakamala, Martins Kagolo, Aggrey Kanene, Peter Sserugo, Reagan Ssentongo, Labeeb Kalifah, Israel Wasswa ne Jamir Mwandha kigambibwa nti, beekobaana ne balumba kkanisa ya Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako kalebule nti, yabatuusaako ebikolwa by’ekikukujju nga kati bawerennemba na misango.

 

Aggrey Kanene, omu ku bali ku fayiro y’omusango, yategeezezza omulamuzi wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Adams Byarugaba nti, n’okubamanya yabalabira mu kkooti ku lunaku lwe yasimbibwa mu kaguli kyokka nga mpaawo gwe yali alabyeko nga bino tebinnabaawo.

Kanene yagambye nti, n’eky’okuba nti, yeeyita looya w’abawawaabirwa kya bulimbawadde omuserikale David Kwikiriza bwe yali awa obujulizi yategeeza nti, ng’akola okunoonyereza, wajja abasajja babiri Israel Wasswa ne Aggrey Kanene abeeyita balooya b’abakwate abaagoberera ensonga zonna kumbe baali mu kkobaane n’abakwate.

Yagattako nti, ne Jamir Mwandha eyeeyita Ssentebe w’abavubuka mu Kisenyi ye yali abazzaamu amaanyi obutava ku nsonga ya kulumiriza Kayanja era nti, waaliwo n’okwogerezeganyanga ku masimu wakati wa bano kyokka kino Jamir takyegaanyi ng’agamba nti, olw’okuba mukulembeze, yali tasobola kulekerera baana abaali bamukaabidde ennaku y’ekkomera.

Kwikiriza 42, yagamba nti, yakizuula nti, abawawaabirwa baasisinkana Omusumba w’ekkanisa ya Christian Life Ministries e Kavule Makerere, Jackson Ssennyonga eyabatuma obujulizi obulumiriza Kayanja nti, yabakolako ebikolwa by’ekikukujju era singa bakikola, yali agenda kubanaazaako ennaku, naye kino Kanene yakisambazze nti, ye tabeerangako mu lukung’aana lwa Bannamawulire era teyalina nsonga eyali emukoza ekyo.

Kanene era yagambye nti, ye tabeerangako na mmotoka wadde omu ku bajulizi yategeeza nti, yabavugako mu mmotoka okubatwala okubakebera mu ddwaaliro e Mulago n’e Nsambya.

Mwandha, amyuka Ssentebe wa Kiganda Zone, yategeezezza nti, abavubuka bano okwali Martin Kagolo, Peter Sserugo, Moses Ssemanobe, Adrian Bbaale, Reagan Ssentongo, baamusanga mu kaduukulu ka poliisi ya Kampalamukadde ne bamusindira ennaku okwali okumutegeeza nti, Omusumba Kayanja yabasobyako n’atabawa ssente.

Kino kyamukwatako nga omukulembeze n’ategeeza ku baserikale ba poliisi n’abasaba okunoonyereza ensonga zaabwe. Eky’okunyumya n’abamu ku bavubuka bano teyakyegaanyi kuba yalina okulondoola wa we batuuse ku nsonga zaabwe. Omusango guddamu nga July 8, 2025 n’abawawaabirwa abalala okuleeta okwewozaako kwabwe.