Omugagga w'omukikuubo Richard Kakonge akwatiddwa

Omugagga  w’omu kikuubo, Richard Kakonge akwatiddwa poliisi ekulembeddwamu DPC wa Wakiso Tai Ramathan, ku biragiro bya minisita omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja, lwa kwesenza ku ttaka eriri ku block 285, plot 38, Busiro ly’atalinaako bwannannyini, n’atuuka n’okulyetooloozaako seŋŋenge, n’okuliteekako abasajja abalina emmundu, ababadde batadde ekyalo Gimbo, e Kiwanga-Ssentema mu Wakiso ku bunkenke

Omugagga w'omukikuubo Richard Kakonge ng'alinnya Kabangali ya Poliisi
By Jill Ainebyoona
Journalists @New Vision

Omugagga  w’omu kikuubo, Richard Kakonge akwatiddwa poliisi ekulembeddwamu DPC wa Wakiso Tai Ramathan, ku biragiro bya minisita omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja, lwa kwesenza ku ttaka eriri ku block 285, plot 38, Busiro ly’atalinaako bwannannyini, n’atuuka n’okulyetooloozaako seŋŋenge, n’okuliteekako abasajja abalina emmundu, ababadde batadde ekyalo Gimbo, e Kiwanga-Ssentema mu Wakiso ku bunkenke.

Bino bibadde mu lukiiko olwayitiddwa aba famire nga beemulugunya ku mbeera eriwo, olwa Kakonge okusibako yiika ezisoba mu 20, kyokka nga baamuguzaako ssatu zokka ku kyapa ekiriko yiika 59, nga ne ssente tannazimalayo olwokusasulako obukadde 200 ku 900 bwe bakkaanya, n’asalawo okulyeddiza kumpi lyonna kulimalawo.

Omugagga nga bamussaako empingu

Omugagga nga bamussaako empingu

Mayanja alagidde Kakonge akwatibwe ne munnamateeka we Rashid Kateregga, olw’okumenya amateeka ne batulugunya ebintu ebisangiddwa ku ttaka ng’ate bakyabanjibwa, n’ategeeza nti Kakonge bw’aba talina kyapa, talinaawo bwannannyini bwonna ku ttaka eryo. Kakonge ne looya we basanze akaseera akazibu, minisita bw’abasoyezza kajojijoji w’ebibuuzo ku kiki ekiraga obwannannyini bwa Kakonge ku ttaka lino, ne batamwattamwa, kwe kulagira bakwatibwe.

Kakonge nga tannakwatibwa asoose kwewera nga bw’atajja kuva ku ttaka lino, kubanga ataddemu ssente ze nnyingi z’atayinza kuleka kufa zityo.

Minista Mayanja ng'annyonnyola

Minista Mayanja ng'annyonnyola

Kaddu Luwagga, omu ku ba famire abaddukanya ettka lino yagambye nti baaguzaako Kakonge yiika ssatu, ne bamuyita bamulage ettaka lye we liri ky’ataakola, kyokka n’asibako yiika ttaano, n’abaako n’eddala lye yeeyongeza, ng’ate mu ndagaano baateesa nti olumalayo ensimbi ng’aweebwa ekyapa, ky’ataagumiikiriza, nga yatuuka n’okusenda emmwanyi eziwerako yiika 11.

Joseph Mulinde, ssentebe w’ekyalo Gimbo yagambye nti famire yamwanjulira omwami Kakonge eyasenzeba ku ttaka lino, kyokka ne bamutegeeza nti tebannamulambuza yiika ze ssatu we ziyita, agenda okuwulira ng’endooliito zitandise.

RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi yagambye nti ng’akulira eby’okwerinda, tasobola kukkiriza mutuuze omu kuleeta basajja ba mmundu mu kitundu nga tafunye lukusa, era alagidde abaliwo bonna ne bakwatibwa.