PULOFEESA Badru Kateregga, alidde ku ze yeekolera. Ono, yafuna obutakkaanya ne mukyala we Jolly Shubaiha Irakunda era ensonga ne bazitwala mu kkooti ng’omukyala tamukkiriza kulinnya mu maka ge ge yeezimbira.
Kateregga, nga ye nnannyini Kampala University bwe yabadde mu kivvulu kya Navio, bakira musanyufu nga bw’ategeeza nti y’essaawa naye asanyukeko kuba akoledde abantu ebintu bingi naye tebasiima.
Kateregga (ku kkono) mu konsati ya Navio.
Navio, yabadde ne konsati ku Serena era Kateregga bakira agamba nti Navio, mutabani wa mukwano gwe, Maggie Kigozi era yabadde alina okubeerayo.
Navio, yabadde ajaguza okuweza emyaka 20 ng’akuba endongo. Ono ye yayimba obuyimba okuli; Nnyaabula, Nnaawuliranga era bwe bumu ku bwe yayimbidde abacakaze, ne bava ne mu butebe, okubiibyamu.
Mu ngeri y’emu, muka Navio, Matilda Nasimbwa yabaddeyo okuwagira bba. Yabadde n’abaana baabwe era abantu baakira boogera obutonotono nti bajjumbidde omulanga gwa Nadduli ogw’okuzaala.