Amawulire

Sipiika Among ab'e Namutumba abasuubizza ekyuma ekigatta omutindo ku binyeebwa nga balonze Museveni

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala,  Anita Among asuubizza abantu b’e Namutumba nga bwe bagenda okufuna ekyuma ekigatta omutindo ku binyeebwa bye balima wamu ne tulakita mu buli ssaza okubayambako mu kulima.

Sipiika Among ab'e Namutumba abasuubizza ekyuma ekigatta omutindo ku binyeebwa nga balonze Museveni
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala,  Anita Among asuubizza abantu b’e Namutumba nga bwe bagenda okufuna ekyuma ekigatta omutindo ku binyeebwa bye balima wamu ne tulakita mu buli ssaza okubayambako mu kulima.

Mu kaweefube gw’aliko okulaba nga pulezidenti Museveni awangula Busoga ku bitundu 80 n’okudda waggulu, Among eggulo akalulu yakawenjereza Busiki mu disitulikiti y’e Namutumba.

Among Nga akoona dansi n’omubaka omukyala ow’e Namutumba Mariam Naigaga

Among Nga akoona dansi n’omubaka omukyala ow’e Namutumba Mariam Naigaga

Eno abakulembeze b’ebyalo ne ku disitulikiti baamusabye zi tulakita okubayambako mu kulima wamu n’okwongera ku malwaliro.

Akwatidde NRM bendera ku kifo ky’omubaka wa Busiki, Joel Waiswa Azalwa asabye Among okutuusa okwebaza eri Museveni ku nsonga ya PDM eyambye abalimi wabula n’asaba babayambeko ku nsonga ya lakita.

Ono yayanjudde n’abavubuka abeegase ku NRM nga bano sipiika abasabye okuwenjeza Museveni akalulu kubanga lw’anajja e Namutumba waakubasisinkana.

Sipiika Among ategeezezza bano nti ensonga emu eri mu manifesto ya NRM yaakulaba nga bongera omutindo ku birime era nga tulakita baakuzifuna, amasomero kwossa amalwaliro.

Asabye ab’eno okwenyumiriza mu ddembe Museveni ly’abawadde nga alaba abasamize teri abakuba ku mukono yadde abalokole.

Ssaabawandiisi wa PLU, David Kabanda asabye abavuganya Museveni okukomya okwogerera ebigambo ebitiisa abalonzi n’agamba oba batidde akalulu balangigire Museveni alangirirwe ku buwanguzi.

Tags:
Kalulu
Namutumba
Museveni