ABATUUZE b’e Baamunaanika ge bakaaba ge bakomba oluvannyuma lw'enkuba okusuula amayumba gaabwe!
Emu Ku Nju Eyabambuseeko Amabaati.
Ebyalo okuli Kikandwa, Kanjuki, Tooke kkulu ebisangibwa mu Town Council y'e Kamira e Bamunanika mu disitulikiti y'e Luweero bye byakoseddwa oluvannyuma lw'enkuba okutonnyera essaawa eziwerako ng'erimu kibuyaga, omuzira era amayumba agasinga yagalese ku ttaka!
Akasolya Ku Ttaka.
Sulaiman Bugembe omuwandiisi ku lukiiko lw'e Kikandwa yategeezezza nti ennyumba ezisoba 10 zabaambuseko obusolya abamu ku baakoseddwa.
Ku batuuze abaakoseddwa kwabaddeko Haisha Naigaga , Anifa Dyoli , Ssaalongo Farouk ,David Osande ,Yusufu Ssemyalo, John Ssegawa , Charles Gitta , Paul Kirya, Alex Byekwaso , Peter Kayemba n’abalala
Yusufu Muyonga, ssentebe wa LC y’e Kikandwa yagambye nti abamu ku baafiiriddwa ebintu kuliko abaabadde baakafuna eza PDM ne batandika okulunda ebisolo nabyo tebyalutonze.
Wano we yasabidde abakulu okuvaayo okudduukirira abantu bano n’okusala amagezi kuba enkuba etandika butandisi