Amawulire

Sisobola kudda mu nsiko kukwata mmundu lwa buyinza - Mugisha Muntu

Rt.Maj. Gen.Mugisha Muntu alayidde nti ye takyayinza kudda mu Nsiko kukwata mmundu lwa kulwanira buyinza n'alabula abalina endowooza eyo nti kya bulabe nnyo eri e Ggwanga.

Sisobola kudda mu nsiko kukwata mmundu lwa buyinza - Mugisha Muntu
By: James Magala, Journalists @New Vision

Rt.Maj. Gen.Mugisha Muntu alayidde nti ye takyayinza kudda mu Nsiko kukwata mmundu lwa kulwanira buyinza n'alabula abalina endowooza eyo nti kya bulabe nnyo eri e Ggwanga.

 

Muntu nga y'akwatidde ekibiina kya ANT bendera ku bwapulezidenti asinzidde mu disitulikiti y'e Kyotera bw'abadde asaggula akalulu n'ategeeza nti ye takyayinza kudda mu nsobi gye baakola ye ne banne abaagenda mu nsiko ne Pulezidenti Museveni gye baakola mu 1980.

 

Ono agambye nti gy'azze ayita ng'asaba akalulu abavubuka bazze bamusaba nti ye nga Genero abawe emmundu balwane kyokka n'alabula nti okwo kuloota misana olw'ensonga nti gavumenti ejjira ku maanyi g'emmundu tebeera ku mulamwa gwa kuweereza bantu.

 

Gen.Muntu agamba nti Pulezidenti yenna awamba obuyinza n'emmundu atamiira amaanyi g'emmundu n'ebitiibwa n'alayira nti ye takyayinza kugenda mu kulwana na mmundu ng'agamba nti waakusigala ng'ayogereza Bannayuganda bamulonde eggwanga likyuse obuyinza mu mirembe.

 

Asabye bannabyabufuzi mu bibiina ebiri ku ludda oluwabula gavumenti okukolera awamu okusinga okwerwanyisa bokka kisobozese Bannayuganda okubeesiga babawe obuwagizi basobole okutwala obuyinza.

 

Gen.Muntu asabye Bannayuganda okumwesiga bamulonde abaweereze ng'agamba nti ye lye ddagala erigenda okujjanjaba ebizibu ebinyiga Bannayuganda,omuli obwavu,ebbula ly'emirimo,enguzi n'ebirala.

Tags:
Muntu
Kulwana
Buyinza
Nsiko