Amawulire

Omugagga Ham azzeemu okuttunka ne Buganda Land Board

OMUGAGGA Hamis Kiggundu asaba Katikkiro wa Buganda okuvaayo agogole ekitongole kya Buganda land Board omuli abamu ku bakozi baakyo baagamba nti nti beerimbika mu linnya lya Kabaka okulemesa abantu okuggusa okwemulugunya kwabwe.

Omugagga Ham azzeemu okuttunka ne Buganda Land Board
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

 

Nze nga Kiggundu ebyapa byenina bya “Freehold”  nga bino bibeera bya ttaka lya gavumenti so ssi lya bwa Kabaka ku “Mailo Land”   era nabiggya wano mu minisistule y’eby’ettaka wetubadde leero era beebalina obuyinza ku byapa byonna'' Bwatyo Ham bwategeezezza.

Naye okuva enkayana zino lwezatandika bw’obasaba tugende ku ttaka tuggulewo empenda tebakkiriza nga bagamba nti bo ebyo tebabigendamu kati obulambulukkufu tunaabufuna tutya okumanya nannyini omutuufu.   

 Bino Ham abyogeredde leero bwabadde y'akafuluma ku minisitule y’ebye ttaka mu Kampala gye babadde bayise enjuyi zombi Ham ne balooya be gattako ne Bugamnda Land Board ssaako ne  ne balooya baabwe.

Hamis Kiggundu nga bali ku kkooti

Hamis Kiggundu nga bali ku kkooti

Ham agambye nti kino eky’okusaba Kattikiro okugogola ekitongole kya BLB  akikoze mu mutima omulungi ng’omusajja omuganda era alumirirwa obuganda n’erinnya lya Kabaka we,  kubanga abantu aboolubatu abali e Mmengo mu kitongole kino abefunyiridde mu kutyobola obwa Kabaka nga bakozesa erinnya lye,  ffe ng’abaganda tetuyinza kukkiriza kino kugende mu maaso.

Ham asabye abakungu bano aboolubatu e Mmengo abali mu mivuyo gino okukomya okukakkanya  n’okutyoboola erinnya lya Kabaka ne batuuka n’okugenda mu ntalo z’ettaka lya futi 100 ku 50, ne bagamba nti Kabaka agambye!!! Ekyo kisoboka ? kyannaku nnyo naye ffe ng’abaganda okutunula obutunuzi ng’emivuyo gigenda mu maaso e Mmengo.

Agambye nti abantu bano abalinako obukakafu era bagenda kubaggulako emisango ng’abantu. Obeera otya ng’okola Mmengo mu kitongole kya BLD ate n’omusanga ne ku disitulikiti mu kitongole ky’e ttaka nga nayo akolayo.

            Ham agambye nti aba Buganda Land Board bagenda mu minisitule nga basaba okusazaamu ebyapa bye ebisangibwa e Kigo ebiwezaako yiika 140, wabula engeri ekitongole kino gye kikolera ku mateeka ne bampandiikira okugenda okuwaayo okwewoozaako kwange

            Bwennateekaayo okwewoozaako kwange ne bagenda ate mu mawulire nti ate Ham wuuno yefuulidde Kabaka. Kubanga kye bakozesa nze nziruke ndekewo ettaka lyange bo bafune abantu abalala balibaguze.

Ekirungi tuli wano mu minisitule y’eby’ettaka awatuufu nsuubira kye manyi buli kimu kigya kuggwa bulungi kubanga nze Kiggundu ndi musajja muganda sisobola kulwana na Kabaka wange.

Era ekyanzigyeyo okuddamu okulwanirira ettaka lyange kwekumala okuzuula nti waliwo abantu abakozesa erinnya lya Kabaka n’ekitiibwa ky’Obuganda ffenna mwetutambulira okwagala okuntwalako ettaka lyange.

Nze ow’e Nkima era jjajja wa Buganda sisobola kuvaayo kulwana na Kabaka wange! Nze ani?

Mbuuza wemuviiriddeyo okunyigiriza nze Kiggundu omusajja omuganda munnamwe ate ey’esobola kati ate abanaku banaagamba batya abali mu byalo.

Omwogezi wa Buganda Land Board munnamateeka Deni Bugaya ng'annyonnyolo kubigenda mu maaso

Omwogezi wa Buganda Land Board munnamateeka Deni Bugaya ng'annyonnyolo kubigenda mu maaso

MMENGO EYOGEDDE

Omwogezi w’ekitongole kya BLD Denis Bugaya ate nga munnamateeka ategeezezza nti bateekayo okusaba kwabwe nga baagala ebyapa bya Hamis Kiggundu bisazibwemu kubanga byatuula ku ttaka lya Bwakabaka.

Hamis Kiggundu yassaayo okwewozaako ng'agamba nti ebyapa bye tebitudde ku ttaka lya Kabaka. kati ffe wetubuuliza nti bitudde wa  ? Mu nnyanja oba  ?" Bwatyo Denis bwategeezezza

 Leero tetulina kyetutuuseeko ky'amaanyi kubanga okuddamu kw’okwewoozako kwa |Hamis Kiggundu tetwakufuna mu budde ne tusaba batuweeyo obudde naffe tubyanukule ng’obwa Kabaka wiiki eggya olwo akakiiko akanoonyereza ku nsonga zino kasalewo ekisembayo.

Bugaya agambye nti buli kimu ekikolebwa ku ttaka lya Kabaka e Mmengo teri muntu mu BLD alina kyonna kyakola nga tamaze kwebuuza ku bakama baabwe abasaliraawo ekitongole kya BLD.

 

 

Tags: