Omubaka omukyala owa Sirongo aleppuka na gwa mpapula za buyigirize

Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Sironko, Namboozo Florence munne gwe yavuganya naye yamuwawaabira nga kigambibwa nti talina mpapula za buyigirize n’okuwakanya obuwanguzi bwe.

Omubaka omukyala owa Sirongo aleppuka na gwa mpapula za buyigirize
By Faisal Kizza
Journalists @New Vision

Leero bw’abadde mu kkooti, ebintu byongedde okumutabukira munne gwe yavuganya naye Aisha Mafabi Nabulo ng’ali ne bannamateeka be abakulembeddwamu Hassan Kamba bwe bajunguludde empapula ze ez’obuyigirize.

Namboozo ne bannamateeka be babadde batutteyo okwewozaako kwabwe ku mpapula z’obuyigirize.

Bannamateeka ba Aisha Mafabi basabye  omulamuzi David Matovu agobe obujulizi obuleeteddwa. Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuusa nga 1/ 09/ 2021.