Amawulire

Omu ku baagala ekifo lya Palamenti ya East Africa atutte okwemulugunya mu kakiiko ka NRM

Ebifo by'okujjuza ababaka ba Uganda mu lukiiko lwa  EALA byongedde okubuguma, omu ku beesimbyewo bwatutte okwemulugunya mu kakiiko ka NRM ak'okuntikko, ng'ayagala kasazeemu banne abaagenze  mu lusirika lw'ababaka e Kyankwanzi.   

Kato ng'alaga ekiwandiiko kyeyatutte mu kakiiko ka NRM
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Ebifo by'okujjuza ababaka ba Uganda mu lukiiko lwa  EALA byongedde okubuguma, omu ku beesimbyewo bwatutte okwemulugunya mu kakiiko ka NRM ak'okuntikko, ng'ayagala kasazeemu banne abaagenze  mu lusirika lw'ababaka e Kyankwanzi.

Robert Kato, abadde akulira eby'okulonda mu kibiina Kya NRM mu Kampala (Returning officer), yaatutte okwemulugunya (petition) eri ssabawandiisi wa NRM Richard Todwong Awany, ku banne okuli Kiwanda Ssuubi n'abalala  bwebeesimbyewo ku kifo kino,  ng'agamba nti, okwetaba kwabwe mu lusirika lw'ababaka ba NRM kiggyawo obwesimbu n'obwenkanya  mu kalulu kebalimu.

Ono agamba nti, okusinziira ku ssemateeka wa NRM now'eggwanga, abeesimbyewo okugenda mu lusirika luno kiggyawo obwenkanya, kubanga  babeera batabaganye n'ababaka ate nga beebalonzi mu nkukutu ate nga bbo tebalinayo buvunaanyizibwa bwabatutteyo,  kitegeeza babakuyega okubawa akalulu mu nkukutu ate ng'abalala tebaweebwa mukisa ogwo.

Agamba nti, ssabawandiisi wa NRM, Richard Todwong yawandiika ebbaluwa nga March 27 ng'ayita ababaka ba paalamenti aba NRM abalonde n'abakulembeze b'akakiiko ka NRM ak'okuntikko aka CEC okugenda mu lusirika olwo.
Nti kyokka yaakizudde nga  waliwo abeesimbyewo ku kifo kya EALA nga beetutteyo bwetwazi, kyagamba nti ssikyabwenkanya,  kwekuteekayo okwemulugunya lwe (petition) mu tribunal ya NRM kuba ebbaluwa ya secretary general yali erambika bulungi  ng'eyita babaka ba Paalamenti, nti kale  abeesimbyewo ku kifo Kya EALA abaagenzeeyo baakikoze mu bukyamu.

Kato ng'alaga ekiwandiiko ky'atutte mu kakiiko ka NRM

Kato ng'alaga ekiwandiiko ky'atutte mu kakiiko ka NRM

N'ategeeza nti, waagenda kubaawo obutali bwenkanya,  ng'ate okusinziira ku  East African treaty, eyogera ku principals ennya omuli; equal footings, democracy, free participations eri abeesimbyewo bonna, nti naye mu mbeera eno nga banne baabadde  n'ababaka ennaku musanvu nga bakukuta e Kyankwanzi mu lusirika,  tewayinza kubaawo bwenkanya,  naasaba banne bonna abaagenze e Kyankwanzi basazibwemu mu lwokaano lw'okujjuza ebifo mu EALA.

Nga kino kyasinziddeko okutwala ekiwandiiko ekyemulugunya  mu bakulu b'ekibiina kyabwe ekya NRM, basazeemu banne abaagenze e Kyankwanzi kubanga tewali bwenkanya, ate tosobola kubeera Kyankwanzi okuggyako ng'oli mubaka omulonde, staff wa NRM oba omukozi (support staff) wa NRM.

Kati abaagenzeeyo nga kaadi zaabwe zisoma NRM staff, kitegeeza basigale nga bakozi ba NRM kuba etteeka liba teribakkiriza ate kwesimbawo mu EALA.

Ye Kiwanda Ssuubi bwatuukiriddwa ku ssimu akakasizza nti kituufu ali Kyankwanzi, nti naye yaayitibwa okubeerayo nga ssentebe w'ekibiina ekitaba emikago gy'ebibiina by'obufuzi mu ggwanga ekya National consultative forum for political parties and organizations, era kaadi ye bwesoma ate era naayitibwa ng'omusomesa (facilitator).
Agamba nti, ate tali yekka wabula eriyo n'abalala nga basatu abeesimbyewo ku kifo kino  abaliyo, naye nga bbo baagenzeeyo nga ba staff ba NRM, nti wabula ye ekikye Kya njawulo, kubanga NRM bwetuuza olusirika nga luno ayitibwa naamanya ebirowoozo by'ekibiina kubanga ekibiina kyakiikirira aba alina okufuna ebirowoozo byakyo asobole okubituusa eri mu Mukago gw'ebibiina obulungi.

Kiwanda Ssuubi eyagenze mu lusirika lwa NRM  e Kyankwanzi Kato gweyeemulugunyaako

Kiwanda Ssuubi eyagenze mu lusirika lwa NRM e Kyankwanzi Kato gweyeemulugunyaako

Agamba teri candidate ku bonna, kubanga okwewandiisa kwabwe kwasazibwamu, kugenda kuddibwamu ng'okulayira kw'ababaka ba paalamenti ye 12 kuwedde. Nti ate n'okwewandiisa tekitegeeza nti emirimu gy'ekibiina ogivaako.

 Okulonda kwa bano, ye nteekateeka y'okuddamu okulonda okujjuza ebifo 2 eby'aba nnayuganda abakiika mu lukiiko lwa East African Legislative Assembly  (EALA), oluvannyuma lw'abantu 2 ku abo 9 abakiikirira Uganda mu EALA okuli; James Kakooza eyaalondeddwa okukiikirira abakadde mu masekkati g'eggwanga mu paalamenti ne Denis Namara eyalondeddwa ku bubaka bwa paalamenti e Kibaale.

Etteeka libakugira okukiika mu paalamenti ya wano ate ne mu EALA, era Liwa emyezi 3 oluvannyuma lw'okulayizibwa kw'ababaka ku bifo byebalondeddwaamu, okulonda abalala okujjuza ebifo byabwe mu  EALA.

Ekisanja kyabwe mu EALA kiggwaako mu 2027, kale ebifo byabwe birina okujjuzibwamu abantu abalala, nga beebano kati ababyetegekera .

Tags: