Amawulire

Owa securiko amenye mmotoka n'abbamu obukadde obusukka mu 300 ne zzaabu n'abulawo!

Justine Akena nga mukuumi w'ekitongole kya Magnum Security, y'anoonyezebwa ku bigambibwa nti yabbye obukadde 290 ne zzaabu okuva mu kifo Goldex Global ku Mawanda Rd  mu Kampala.

Owa securiko amenye mmotoka n'abbamu obukadde obusukka mu 300 ne zzaabu n'abulawo!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

POLIISI eri mu kuyigga omukuumi w'ekitongole ky'obwannanyini agambibwa okumenya emmotoka n'abbamu obukadde obukunukkiriza mu 300 ne zzaabu.

Justine Akena nga mukuumi w'ekitongole kya Magnum Security, y'anoonyezebwa ku bigambibwa nti yabbye obukadde 290 ne zzaabu okuva mu kifo Goldex Global ku Mawanda Rd  mu Kampala.

Kigambibwa nti obunyazi buno, bwabaddewo ku wiikendi nti era yabuzeewo poliisi emuyigga.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, asabye abo bonna abamumanyi , okutemya ku poliisi .

Mu ngeri y'emu era poliisi e Kajjansi, ekutte omu ku booluganda agambibwa okuwa omwana ow'omwaka ogumu eddagala erisusse ku ddoozi n'afa. Eyafudde ye  Promise Balisala ow'e Katwe cell e Nakawuka mu Wakiso

Tags:
Amawulire
300
Bukadde
Kubba
Zzaabu
Poliisi
Mmotoka