Amawulire

Be basanze n'ennyama y'ente eteeberezebwa okuba enzibe mu mmotoka bakwatiddwa poliisi

ABANTU basatu abagambibwa okubba ente 9 ne bazisala ennyama ne bagitambuliza mu mmotoka, bakwatiddwa poliisi e Mubende.

Be basanze n'ennyama y'ente eteeberezebwa okuba enzibe mu mmotoka bakwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU basatu abagambibwa okubba ente 9 ne bazisala ennyama ne bagitambuliza mu mmotoka, bakwatiddwa poliisi e Mubende.

Bano, kuliko Jamil Mugisha ow'e Kyengera mu Wakiso, Andrew Mayambala w'e Bulenga era nga dereeva, Kuluthum Nanfuka omusuubuzi mu kabuga k'e Mityana.

Kigambibwa nti bano, babadde batambulira mu mmotoka ekika kya  box body nnamba UBM 838R nti bwe batuuse ku kyalo Wakago mu muluka gw'e Kalonga e Mubende, patrol ya poliisi nnamba UP 03330 n'ebayirimiza .

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lamerk Kigozi, agambye nti babalagidde okuggulawo emmotoka emabega ne bagaana, kwe kubalagira bagitwale ku poliisi e Mubende, gye basanze nga bapakiddemu ennyama y'ente ensale 9.

Agasseeko nti balemeddwa okunnyonnyola engeri gye baafunyemu ennyama eno, ne babaggalira era ng'omuyiggo gw'okumanya gye baazibbye, gugenda mu maaso.

Tags:
Poliisi
Nnyamba
Kubba
Mmotoka