Abantu basatu abagambibwa okubeera mu kibinja ekimenya amasinzizo n'emizikiti ne babba ssente n'ebintu ebirala, bakwatiddwa.
Kino kiddiridde abantu okulumba Kavumba SDA mu Wakiso, ne banyagamu ebyuma by'amaloboozi ne ssente ne balumba n'omuzikiti namwo ne babbamu ebintu ku Lwomukaaga.
Abakwatiddwa, kuliko Ronald Sekitooleko, Wabwire ne Robert era ng'okuyigga abalala, kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti bwe baayazizza gye basula, baabasanze n'ebimu ku bibbe era ng'ekiseera kyonna, baakutwalibwa mu kkooti.
Kituuma asabye abakulira amasinzizo n'emizikiti okussaawo obukuumi wamu ne kkamera, nti kuba mu kiseera kino ababbi beegumbulidde okumenya ne babba amasinzizo.