Abantu basatu bafudde, n'abalala babiri ne baweebwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi mu kabenje akagudde e Kamuli.
Kabadde Bufumba ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli era nga kabaddemu pikipiki bbiri n'emmotoka ya ttakisi.
Ttakisi ebadde nnamba UAY 420 W ne pikipiki okuli nnamba UFM 208 W Bajaji ne UFB 491 J ekika kya Tv’s.
Abafudde kuliko Waiswa Isingoma 25, omuvuzi wa pikipiki era ng'abadde abeera Bukapere mu Kasambira Town Council, Muloobo Mutebi 55 nga w'e Bukose, Mpiima Waiswa 29, ng'abadde musaabaze ku pikipiki era nga mutuuze w'e Bugoloire Mbulamuti.
Abalumiziddwa, kuliko Geoffrey Isabirye 27 ng'ono kondakita wa takisi era ng'abeera Mafubira - Jinja n'omulala omuvuzi wa pikipiki atannamanyika era nga batwaliddwa mu malwaliro okufuna obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti ddereeva wa ttakisi adduse era bamuyigga.
Ayongeddeko nti omuvuzi wa ppikipiki nnamba UFM 208 W awese omulundi gumu ng'ava e Kamuli okudda e Mbulamuti nti munne owa UBF 491 J abadde amugoberera okuva emabega n'amutomera bonna ne bagwa mu luguudo wakati, ttakisi bw’ebasazne n'ebasaabala ne bafa n'okulumya abalala.