Amawulire

Poliisi ekiboga ekutte 14 okuli n'omwana omuwala ku by'okusala ensawo

ABANTU 14 okuli n'omwana omuwala, be bakwatiddwa mu kikwekweto e Kiboga, nga babalumiriza okusala ensawo n'okwenyigira mu bunyazi obw'enjawulo.

Poliisi ekiboga ekutte 14 okuli n'omwana omuwala ku by'okusala ensawo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU 14 okuli n'omwana omuwala, be bakwatiddwa mu kikwekweto e Kiboga, nga babalumiriza okusala ensawo n'okwenyigira mu bunyazi obw'enjawulo.

Mu kikwekweto kino, abantu babiri abagambibwa okugula ebibbe , nabo bayooleddwa ne babaggalira , ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Kino kiddiridde okwemulugunya okuva mu basuubuzi n'abatuuze mu kitundu ku bubbi bw'okunyakula amasimu, obusawo n'okumenya amayumba okweyongera.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti ebikwekweto ebirala, bigenda mu maaso okulwanyisa obumenyi bw'amateeka.

Tags:
Amawulire
Kiboga
Bunyazi