Olukiiko lw'abasuubuzi Robinah Nabbanja lweyayise lugudde butaka

OLUKIIKO olubadde luyitiddwa kattikiro wa Uganda,Robinah Nabbanja okuteesa n'abasuubuzi abali mu kweekalakaasa olw'ensonga z'emisolo lugudde butaka.

Nabbanja ng'ali mu lukiiko olwayiise
By Moses Kigongo
Journalists @New Vision
OLUKIIKO olubadde luyitiddwa kattikiro wa Uganda,Robinah Nabbanja okuteesa n'abasuubuzi abali mu kweekalakaasa olw'ensonga z'emisolo lugudde butaka.
 
Kino kiddiridde abasuubuzi okuteekawo akakwakulizo k'okusooka okuta bannaabwe abakwatiddwa eggulo ku Lwokubiri ku makya nga balaga obutali bumativu bwabwe mu kwekalakaasa okwaabadde kugenda mu maaso mu kibuga Kampala wakati.
 
Olukiiko luno olubadde lwetabiddwaamu abakungu ba gavumenti abenjawulo olubadde; Minisita w'ebyobusuubuzi,Gen.Wilson Mbasu Mbadi,akulira ekitongole ekiwooza omukolo mu ggwanga,John Musinguzi Rujoji n'abakungu okuva mu minisitule y'ebyensumbi abakiikiriddwa,Moses Kuggwa, lutudde ku offiisi z'ekitebe kya Uganda Bureau Of Statistics-UBOS mu Kampala..
 
Nabbanja olubadde okubanjulira ensonga ebayisizza, abasuubuzi ne bamutegeerezawo nti si beetegefu kugenda mu maaso n'okuteesa kunsonga ezikosa obusuubuzi  nga banabwe 11 abakwaatiddwa kunsonga ze zimu bakyaali mu kkomera.
 
Bano baamusabye asooke ankubire akulira poliisi essimu babayimbule oba okumuwerekerako ku kkomera gye bali basooke babagyeyo olwo batuule ne gavumenti bateese kunsonga ezaabaviiriddeko okweekalakaasa.
 
"Tetuyinza kutuula kuteesa namwe nga banaffe mwabasibidde mu makkomera gamwe kunsonga ze zimu ze tutesaako," 
bwatyo omu ku basuubuzi bwategeezeza wakati mu kulaga obutali bumativu.
 
Okuteesa kwe, kuwagiddwa abasuubuzi bonna era ne baleekanira waggulu nga nasaba kattikiro okukola kye basabye.
Wakati mu kusoberwa, Nabbanja akikiriza okusaba kwabwe, naayimiriza olukiiko luno okutuuka ku ssaawa 8:00 ez'emisana we banaaluddiramu.
 
Ezimu kunsonga ezisuubirwa okuteesebwaako mulimu; ey'omusolongwa kkiro, eya konteyina ezikyalemedde mu URA, ey'okulinnyisa ssente kwe basasulira ssente za VAT okuva ku bukadde 150 okutuuka ku kawumbi n'endala. Era zino ze zaawaliroxa abasuubuzi bano okuggula amadduuka gabwe ku Lwokubiri ku makya,wadde nga waliwo banabwe abakyagguddewo bizinensi zaabwe mu kibuga.
 
Abasuubuzi baagala ensonga zaabwe zisooke zikolweeko balyooke baddemu okugaggula.