Ebyenjigiriza gwe musingi gw’eggwanga

AMANGU ddala nga yaakatikkirwa, Kabaka Ronald Mutebi  II yatandikirawo kaweefube w’okulaba engeri gy’atumbulamu ebyenjigiriza by’abantu be bangiabaali bataaguddwataaguddwa entalo n’ekirwadde kya siriimu eyafuula bangi bamulekwa.

Nnaalinya Victoria Nkinzi (wakati mu maaso), Katikkiro Charles Peter Mayiga (ku ddyo) ne Kkangaawo Ronald Mulondo (ku kkono) oluvannyuma lw’okuggulawo ekizimbe ekyabbuddwaamu Kabaka Mutebi II ku St. P
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AMANGU ddala nga yaakatikkirwa, Kabaka Ronald Mutebi  II yatandikirawo kaweefube w’okulaba engeri gy’atumbulamu ebyenjigiriza by’abantu be bangi
abaali bataaguddwataaguddwa entalo n’ekirwadde kya siriimu eyafuula bangi bamulekwa.  Nga July 26, 1998 ku mukolo  ogwali ku Grand Imperial Hotel mu Kampala, Kabaka yatongoza ekittavu ky’okuyamba abaana b’eggwanga okusoma. Okumala ebbanga eryo abayizi abasukka mu 10,000 bafunye omukisa okusoma  ku mitendera egy’enjawulo.
Mu 1998, Kabaka yasiima  essomero Lubiri Nnabagereka  P/S liddemu okusomesa abaana  b’eggwanga oluvannyuma lw’okuggyibwawo mu 1966. Ate  mu 1999, siniya eya Lubiri High  School litandikibwe mu Lubiri e Mmengo.
Mu 2007, Kabaka yasiima  Obwakabaka butandike Yunivasite  ng’eno eyitibwa Muteesa
I Royal. Okuva olwo ezze ekula n’okusomesa abaana b’eggwangbangi ddala. Nga March 11, 2024 yafuna ‘caata’, ekintu ekigyongedde,  embavu mu kisaawe ky’ebyenjigiriza.
“Obwakabaka  bwasalawo okwenyigira mu byenjigiriza. Ekiruubirira kyaffe mu byenjigiriza kwekulaba ng’abantu bafuna ebyenjigiriza, ebisoboka  ate nga
biri ku mutindo,” Minisita Cotilda  Nakate Kikomeko  minisita wa avunaanyizibwa
ku  nkukulaakulana y’abantu ba Buganda nga muno mwe mugwa n’ebyenjigiriza
bw’agambaWiiki ewedde yunivasite ya Muteesa I Royal, yatongozza enteekateeka nnamutayiika eya 2025/2030 ng’eno eruubirira okutumbula ekitiibwa n’omutindo gwayo okuli okuteeka essira ku kutumbula obuwangwa omuli  olulimi Oluganda, obulimi,
tekinologiya n’ebirala. Obwakabaka buteekateeka okuzimba ebizimbe eby’omulembe
ku yunivasite eno, okugiteeka ku mutendera gw’ensi yonna  ng’egenda kutandikira ku ttabi ly’e Kakeeka.
 Ku ntandikwa y’omwaka  guno, Obwakabaka bwatandise amasomero ga nnasale okubangula abaana abato oluvannyuma lw’okukizuula nti, mu Uganda abaana ebitundu 17.3 ku buli 100 be bayita mu nteekateeka y’amasomero g’abato. Omuwendo  guno guli wansi wa Kenya erina  ebitundu 44 ku 100 ne Rwanda erina ebitundu 35.1 ku buli 100. “Olw’embeera eno Obwakabaka bwasalawo omwaka guno okutandika n’amasomero 10
ate mu mwaka gw’ebyensimbi guno tuluubirira okwongerako amasomero amalala 20
n’ekigendererwa ky’okuwa abaana abato omusingi omugumu okuyita  mu byenjigiriza ebisoboka,” Minisita Cotlida Nakate Kikomeko bwe yategeezezza.
Obubaka obukubiriza abantu okunyiikirira okusoma bubadde bungi. Kabaka emirundi mingi  azze alaga abantu be obukulu bw’okusomesa abaana nga
ky’ekyobugagga omuzadde
ky’asobola okuwa abaana be.
 Ekisaakaate kya Nnaabagereka: Kino kikoze omulimu munene okubangula abaana mu buwangwa n’Ennono. Okubassaamu enneeyisa ez’obuntubulamu.
 Omukungu Adrian Mukiib  nga y’akulira emirimu mu Nnaabagereka Development
Foundation abategeka ekisaakaate kino agamba nti, enteekateeka eno  yeetabiddwaamu abaana abali eyo mu 45,000.   Omukwanaganya  w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka  Laeticia Nakimuli, agamba nti, baagala okulaba ng’abaana ba Buganda awatali kwawula  kitundu mwe babeera, bafuna ebyenjigiriza eby’omulembe ate ebisoboka. “Kabaka Education Fund twayongera okugitereezaamu ng’oli asobola okufuna bbasale ng’ayita ku mutimbagano. Okutumbula omutindo mu masomero ekitongole kya Buganda Examinatuon Council, ekikola ku bigezo kyateekebwawo ate waliwo n’enteekateeka y’okuvumbula ebitone mu baana eyitibwa BRASHFEST nga muno  Kabaka agabira amasomero agasinze Engabo ez’enjawulo,” Nakimuli bwe yagambye