BASSEKABAKA BA BUGANDA;n’Ekyabafuula ab’amaanyiKabaka Kintuyatandikawo Buganda n’agibangirawo n’ennono kw’etambulira

BUGANDA y’emu ku bitundu mu nsi naddala mu Afrika ekyasooka okubaamu obugunjufu era ng’embeera eno yeewuunyisa Abazungu bwe baatuuka kuno ngakumpi buli ekiri ewaabwe ne mu Buganda bwekiri.

BASSEKABAKA BA BUGANDA;n’Ekyabafuula ab’amaanyiKabaka Kintuyatandikawo Buganda n’agibangirawo n’ennono kw’etambulira
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BUGANDA y’emu ku bitundu mu nsi naddala mu Afrika ekyasooka okubaamu obugunjufu era ng’embeera eno yeewuunyisa Abazungu bwe baatuuka kuno nga kumpi buli ekiri ewaabwe ne mu Buganda bwekiri.
Obugunjufu n’enkulaakulana mu Buganda tebyereetanga byokka,
wabula byakolebwanga Bakabaka  ab’enjawulo.
Nga twetegekera Amatikkira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi  II ag’omulundi ogwa 32, BUKEDDE akuleetedde Bassekabaka ab’amaanyi, abaakola ebya naggwano era eby’enkizo mu kuzimba Buganda.
Leero tukuleetedde ‘KabakaKintu ng’ono ye Kabaka wa Buganda  eyasooka. Ono ebyafaayo biraga nti, ye musajja eyasooka ku nsi eyawasa Nambi Nantuttululu muwala
wa Ggulu, era eyeerabira obulo bw’enkoko ze mu kuddayo abunone n’atusombera Walumbe, atutigomya ne gyebuli eno.
KABAKA KINTU YE YATANDIKAWO BUGANDA
Newankubadde Katonda bwe yali atonda ensi, ettaka Buganda kw’etudde yalitonda omulundi gumu era nga n’abantu bwebali, naye obukulembeze mu Buganda era nga
Kabaka y’ali ku ntikko bwatandikira ku Kabaka Kintu.
Okusinziira ku kitabo ‘Abateregga ku Nnamulondo ya Buganda’, ekyawandiikibwa S. Kasirye, Kabaka Kintu mu kiseera we yajjira mu uganda, yasangamu abantu abeddira emiziro egy’enjawulo okuli; Olugave, Effumbe, Engeye, Enjaza, Ennyonyi Ennyange n’Emmamba Kakoboza.
Kabaka Kintu bwe yajja, yaleeta n’ebika ebirala okuli; Abalangira, Empeewo, Emmamba ya Gabunga, Ekkobe, Empologoma, Envuma, Embwa, Entalaganya, Namungoona, Engo, Enjovu, Enkejje, Engonge, Envubu, Enkima n’Empindi. Ebika ebyo ebyawera 22 byagattibwa ‘ng’Obuganda’ era ne bikola Buganda.
YATANDIKAWO OKUSOMESA ABANTU ENNONO BUGANDA KW’ETAMBULIRA
Mu kitabo ekitiibwa kya Buganda, Kabaka Kintu ayogerwako ng’ekimu ku bibuga bye yakuba mu Buganda, yakikuba Magonga mu BusujjuEkitundu kyonna mu kusooka kyayitibwanga Magonga, kyokka nga kiriko akatunnumba. Nti ku katunnumba kano, Kabaka Kintu we yatuuza Abataka n’ababuulira ku ngeri Omuganda gy’alina okweyisaamu.
Abataka be yali nabo abamu n beewunaganya nti, ‘Naye Omukulu ng’anonooza nnyo! Akatunnumba ako ne kayibwa ‘Nnono’ nga ne mu  kiseera kino e Busujju gyekali.
Mu ngeri y’emu era awo we  wava ekigambo ‘ennono’ nga zino z’empisa Omugandaz’alina okuba nazo ng’ali ne bantu banne ate n’eri butonde.
Mu mbeera eno, okiraba nti Kabaka  Kintu ye yatandikawo Buganda ate n’agibangira n’empisa kw’erina okutambulira. Ogwo gwe musingi  Buganda kweyimiridde okuva olwo n’okutuusa kati mu myaka egigenda mu 1000 nga Buganda weeri. Okusinziira ku biwanuuzibwa,  kigambibwa nti, Kabaka Kintu ‘teyakisa mukono’, nti ono yabula  bubuzi ne Katikkiro we Kisolo era Abaganda balina essuubi nti, luliba olwo alikomawo ne baddamu ne bamulabako. Eno y’ensonga lwaki, bw’obaako kye weekanga ogamba,  “Oba ekyo Kintu?”, nga weebuuza oba olabye Kabaka Kintu. Abandi bwe beekanga
bagamba nti, “Oba kisolo?”, anti nga balowooza nti, oba oli awo yandiba nga balabye Kisolo eyali Katikkiro wa Kabaka Kintu gwe yabula naye. Olubiri lwa Kabaka Kintu e Nnono mu Busujju lukyaliyo.