JOHN Kakande eyali omukozi wa bbanka, yafiira mu kabenje omwaka oguwedde, kyokka n’okutuusa olwaleero aba ffamire bakyalemeddwa okugabanya emmaali ye, olw’okusika omuguwa wakati wa bakazibaggya.
Emmaali ya Kakande ekyalemye okugabanwa, mulimu amayumba g’abapangisa, ettaka, ssente za yinsuwa, n’ezokubaliyirira aba famire olw’omuntu waabwe okufiira
mu kabenje.
Okusika omuguwa okw’amaanyi kuli wakati wa bannamwandu Federesi Nabukalu ne Immaculate Twikiriza. Nabukalu yalina bamulekwa babiri, naye nga tali mu
maka era Kakande we yafiira nga baayawukana.
Ate Twikiriza ye baamwanjula mu bufumbo bw’obuwangwa era ye yali mu maka, kyokka Kakande we yafiira yali tannamuzaalira mwana. Kyokka waliwo n’abaana
abalala 4 omugenzi be yazaala mu bakyala abalala.
Wano ttabbu w’evudde, nga buli ludda lwagala okukulemberamu kaweefube w’okugabanya emmaali y’omugenzi. Kakande yali mutuuze w’e Nansana mu Nassere zzooni.
ENFA YA KAKANDE
Alipoota ya Poliisi eyawandiikibwa ASP Tifu Nabala, Bukedde gye yalabyeko, akabenje akaggya Kakande mu bulamu kaagwa wakati w’essundiro ly’amafuta ku Jenina e Nansana Gganda ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima, mmotoka ekika kya Sino truck bwe yatomera pikipiki bbiri nnamba UFG 929U n’endala UFG 941X Kakande kwe yali atambulira era n’afiirawo.
NABUKALU ANNYONNYODDE
Nabukalu omutuuze w’e Mukono ku kyalo Butebe yannyonnyodde nti: Bazadde ba Kakande baali baava Rwanda ne basenga mu bitundu by’e Luweero.
Twayagalana ne Kakande nga nkyali muwala mu 1982. Mu
kiseera ekyo, Kakande yali akolera mu maka g’omugenzi Hannington Kasoma ate nga bw’asoma ku ssomero lya Mukono Bishop. Omukwano gwaffe gwavaamu
omwana waffe asooka nga ye Kasule Hannington. Era gwavaamu
n’omwana ow’okubiri John Kibirige, nga kati ali mu myaka 30. Ekiseera kyatuuka ne twawukana oluvannyuma lwa Kakande okumaliriza emisomo gye, n’atandika okukola emirimu egivaamu ssente. Twafunamu okusika omuguwa ensonga ne
ziggweera mu kitongole ekiyamb okulwanirira eddembe
ly’abakyala ekya FIDA.
Ensonga twazimal era Kakande n’atandika okulabirira n’okuweerera
abaana pakabwe baakula ne bamala n’okusoma.
Abaana bwe baamala okusoma ne batandika okwekolerera. Kakande yabatwala
e Nansana mu Nassere zoonim gye yazimba amaka. Wadde mu maka mwalimu muggya wange Twikiriza, tekyagaana Kakande kutuusaayo baana. Yategeeza
mukyala we Twikiriza nga bwe yazaala abaana era n’abamulaga. Enkwatagana yeeyongera wakati wa Kakande n’abaana be. Yatuuka n’okwesitula n’ava e Nassere
mu Nansana n’ajja e Mukono ne mutwala e Nakabago omulenz Kibirige owookubiri gye yagula poloti. Yagiraba era n’asanyukira ddala.
Batabani ba Nabukalu omu ali bweru wa ggwanga, ate omulala
abeera wano.
Ekyewuunyisa bannyina b’abaana bange bansindikira akapapula
nga bantegeeza nti balonze abantu abagenda okuddukanya emmaali y’omugenzi naye nga batabani bange tebaliiko, nga ne mu lukiiko tebaatuyita tumanye byabugagga
ki ebiriwo bye bagenda, okugabanya.
Abantu abaalondebwa nga kuliko omuwala Hope Nakakande, muganda w’omugenzi Ronal Ssemaluulu n’omukyala ow’omu maka.
Wano Nabukalu w’atabukira ng’agamba nti wandibaawo ekigendererwa ky’okubakuluppyaako ebintu.
MUKYALA TWIKIRIZA KY’AGAMBA
Mu kifo ekisangibwa e Nansana ekimanyiddwa nga “Kuwajjembe” weewali ekifo Twikiriza w’akolera.
Twasanzeewo omu ku bakozi be eyamukubidde essimu ku nsonga
yabadde etutteyo omusasi wa Bukedde.
Bwe yannyonnyoddwa yayanukudde nti “Sirina nnyo bya kwogera ku mukyala Nabukalu naye asaana amanye nti buli kye nkola ku bintu bya baze nkikolera
mu mitendera ate mu mateeka. Ndi mugonvugonvu era sirina bingi bye ngenda kwogera. Oba Nabukalu ebintu abiraba bw’atyo, agende mu maaso