POLIISI e Kajjansi ku luguudo lw'e Ntebe eri mu kuyigga abasajja babiri, abagambibwa okutamiiza omuwala ne bamusobyako bombi.
Abanoonyezebwa ye Simon Ngobi ne munne ategeerekese nga Chairman, ku bigambibwa nti baatamiizizza omuwala okuva mu kifo ekimu e Lubowa , ne bamuvuga mu mmotoka ekika kya Subaru okumutwala mu nnyumba emu mu Akright gy'abalumiriza okumutuusaako obuliisaamaanyi bombi.
Kigambibwa nti Ngobi yakwanye omuwala ono ow'emyaka 22 nti kwe kumuyita basisinkane nti n'oluvannyuma n'amuteera ebintu mu mwenge ebyamutamiizizza nti okudda engulu, nga bamusobezzaako.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso nti baliko ebimu ku bizibiti bye bagenda mu maaso n'okwekenneenya nga bwe bayigga ababiri bano.