POLIISI eyitiddwa bukubirire okutaasa omuvubuka ku bantu ababadde bamugajambula nga bamulumiriza okubaako omuntu gwe yabadde asala ensawo abbe ebintu bye.
Bino byabaddewo ku Lwokusatu abaserikale okuva ku poliisi ya Mini Price bwe baayitiddwa bukubirire okutaasa omuvubuka eyategeerekeseeko erya Sula eyabadde agajambulwa abantu okumpi n’ekizimbe kya City Base Complex nga bamulumiriza okugezaako okusumulula ensawo y’omuntu gwe yabadde agoberera abbemu ebintu.
Akulira poliisi ya Mini Price, Joseph Muliika yagambye nti abaalabye ng’abantu bakkakanye ku Sula nga bamugajambula be baayise abaserikale basobole okumutaasa n’okumuwonya ensambaggere era we baatuukiddeyo abakuumi ku kizimbe kya City Base Complex baabadde bamaze okumutaasa.
Yagambye nti olwatuusizza Sula ku poliisi, kyazuliddwa nti y’omu ku basazi b’ensawo ab’olulango era nga poliisi emukutte enfunda eziwera n’aggalirwa wabula oluyimbulwa n’atandikira we yakoma okusala ensawo z’abantu era nga amakanda agasiba nnyo ku Burton Street.
Wabula Sula yeegaanyi okubaako omuntu gwe yabadde ababba kyokka nga abaamukubye baamuteeberezza ekintu ky’ataakoze n’agamba nti ye atunda butwa bwa mmese ku Yamaha Centre