Omuserikale w'ekitongole ky'obwannannyini agambibwa okukuba omusuubuzi mu Kampala amasasi agaamusse ,poliisi emaze n'emukwata.
Hillary Byaruhanga 28 ng'akolera kitongole kya Don World Security Ltd, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti yakubye Anthony Mutinisa 53 amasasi agaamusse n'amunyagako ssente n'emmotoka.
Mutinisa nga y'abadde nnyini kampuni ya Mutinisa motors Uganda era nga mutuuze w'e Bulindo , kigambibwa omukuumi yamukubidde Ntinda mu Kampala amasasi ku Ssande n'abulawo ne ssente.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti Byaruhanga bamukutte n'emmotoka y'omugenzi nnamba UA 769 BQ Land Cruiser okuva e Katwe cell mu Kihihi town Council e Kannungu.
Agasseeko nti baamukutte ne munne Mark Akampa era bakuumirwa ku poliisi e Kannungu.