Abasaabaze abawerako basimuttuse okufiira mu kabenje enkya ya leero, bbaasi mwe babadde batambulira bw'etomedde eggaali y'omukka e Mukono.
Akabenje kabadde Namumira e Mukono, bbaasi ya Trinity Express nnamba RAH 629B ebadde eva e Nairobi okwolekera Kampala, bw'etomedde ekimu ku byana by'eggaali y'omukka ng'esala oluguudo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti dereeva w'eggaali y'omukka Henry Munyarurembo n'omugoba wa bbaasi Erat Bulya ,bakyagenda mu maaso n'okukola sitatimenti ku ofiisi za Uganda Railways e Kyetume okubuuliriza kugenda mu maaso