Ekisulo ky'essomero kikutte omuliro ebintu byonna eby'abayizi ebibaddemu ne bibengeya.
Bino, bibadde ku ssomero lya Waggwa High School e Lukaya mu disitulikiti y'e Kalungi, mu kiro ekikeesezza leero ng'abayizi bali mu kusoma ebitabo mu kifo ekirala.
Ebintu ebiyidde , okuli engoye, ebitabo, emifaliso, by'abayizi abalenzi aba siniya eyokuna n'Eyomukaaga kyokka nga tewali afudde wafudde akoseddwa.
Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye, agambye nti basobodde okweyambisa ekimu ku bimotoka ebikola e nguudo, okusobola okuguzikiriza.
Agasseeko nti gwonoonye ebintu byonna nga kw'ogasse n'ekizimbe era nga bali mu kunoonyereza okuzuula ekivuddeko omuliro guno.