EMMANUEL Dombo, mulimi ate era omulunzi nga mutuuze ku kyalo Kachonga mu disitulikiti y’e Butaleja. Agamba nti, yasalawo okulima n’okulunda by’akolera ku ttaka lye mu kyalo asobole okwongereza ku nnyingiza ye.
Alunda ente ez’olulyo ez’amata nga buli lukama azifunamu liita 250 ge banywako n’okutunda n’afuna ssente ezisasula abakozi ate naye okwebeezaawo ne ffamire ye.
Ente z’alunda yazizimbira biyumba mwe zisula ng’azaalirira emifaliso gy’obukuta bw’omuceere, kw’assa okuzirimira omuddo gw’ebisagazi ne kasooli gwe zirya.
Dombo agamba nti, akaza n’omuddo oguliibwa ente u kiseera ky’ebbula y’emmere ekiyamba ente ze obutaddirira.
Agamba nti, yasalawo ffaamu ye okugifuula ettendekero ly’abalunzi n’abalimi naddala ab’oku kyalo kye ng’abasomesa bw’olundira mu kiyumba n’ofuna ekisinga.
Ng’oggyeeko okulunda ente ez’amata, agattako okulima emmere ey’enjawulo okuli; ebijanjaalo, kawo n’olusuku. Ente zimuyamba okufuna ebigimusa ate n’afuna ne ‘biogas’ ekiyamba okutaasa obutonde bw’ensi.
Akozesa amazzi g’ennume okuwakisa ente ezize n’ez’abatuuze ennansi ne zisobola okuzaala maleeto ezivaamu ez’embala era ne zikola bulungi, ekiyambye abantu b’ekitundu okuganyulwa mu kulunda okutali kwa kubuna byalo.
Dombo yawadde Bannayuganda n’abakulembeze amagezi obuteemalira ku kukola mulimu gumu, wabula bagezeeko n’ebirala balinnyise ennyingiza yaabwe beegobeko obwavu.
Ate kiyamba n’okubeera n’emmere eteri ya kugula n’okekkereza ensaasaanya