Ekimu ku bizimbe ebibadde bisinga obuwanvu mu kibuga Khartoum e Sudan kikubiddwa ne kituntumuka omuliro, mu kulwanagana wakati w’ebibinja bya magye ga gavumenti okwabalukawo mu April w’omwaka guno.
Ekizimbe ekyakubiddwa bakiyita Greater Nile Petroleum Operating Company (GNPOC) Tower, nga kyamalirizibwa okuzimbibwa mu 2010. Ekizimbe kino kye kimu ku bizimbe amatiribona ebibadde birabisa obulungi ekibuga Khartoum. Abaakubye ekizimbe kino we twagendedde mu kyapa nga tebannategeerekeka, naye nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo.
Okulwanagana kuli wakati wa magye ga Sudan, aga Sudan Armed Forces, agaduumirwa Genero Abdel – Fattah Al-Burhan, n’ekibinja kya Rapid Support Forces ekiduumirwa Mohamed Hamdan Dagalo.
Ekibinja kya Dagalo kyali wansi wa magye ga Sudan, kyokka ku mulembe gwa Omar Bashir eyali pulezidenti wa Sudan, aba RSF baalina enkizo ya maanyi nga bafuna okutendekebwa okw’ekikugu nga n’ebyokulwanyisa bye balina bya maanyi era nga be baali bakuumira Bashir mu buyinza.
Oluvannyuma lw’okumaamula Bashir mu buyinza, amagye gaakola enteekateeka ey’okugatta ekibinja kya Dagalo mu magye, ekintu Dagalo ne basajja be kye baagaana nga bagamba nti balina kusigala nga beetengeredde nga bwe baali ku mulembe gwa Bashir.
Kino kyaleetawo obutakkaanya obwavaamu olutalo nga April 15, 2023, era kati ekibuga Khartoum mwe basinga okulwanira kyonna kifuuse matongo. Ku Lwomukaaga okulwanagana kwazzeemu na maanyi nga aba RSF bakuba enfo z’amagye omwagendedde n’ekizimbe kino eky’emyaliiro 18.
Ebifo ebirala ebyakubiddwa, mwe muli ekizimbe okubadde ofiisi ya minisitule y’ebyamateeka, kw'ossa ofiisi z’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’omutindo n’embeera y’obudde.
Olutalo luno lwakafiiramu abantu abasoba mu 4,000 okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte, naye nga omuwendo guno gusuubirwa okuba nga gusukkamu. Bo abantu abasoba mu kakadde kalamba basuubirwa okuba nga be bamaze okwabulira eggwanga eryo.