Abaakattibwa mu lutalo e Sudan baweze 600

ABANTU abaakattibwa mu lutalo lwa Sudan oluyingidde wiiki eyookusatu baweze 600.

Emmundu ekyatokota buteddiza e Sudan
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU abaakattibwa mu lutalo lwa Sudan oluyingidde wiiki eyookusatu baweze 600.

Abalala 4,599, be baakatuusibwako ebisago eby’amaanyi okuva olutalo lwe lwabalukawo nga April 15, wakati w’amagye ga gavumenti ya Gen. Abdel Fattah al-Burhan n’abalwanyi b’ekibinja kya Rapid Support Forces (RSF) ekiwagira Gen. Mohamed Hamdan Dagalo.

Okuva nga April 15, emmundu etokota era kaweefube w’okukomya olutalo akyagudde butaka. Amagye ga gavumenti gaategeezezza nti baawaliriziddwa okuddamu okulwana bwe baakizudde nga aba RSF ebyokuyimiriza okulwana si bye baliko.

Emirimu gyonna gyasannyalala mu kibuga ekikulu ekya Khartoum okuva olutalo bwe lwatandika era abantu abava mu nsi endala bangi baamala okuzingako engugu okwetegula ekibabu.

Ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku kugaba emmere ekya United Nations’ World Food Programme kyalangiridde nga bwe kigenda okuddamu okugaba ebyokulya bye kyali kyayimiriza olw’okuttibwa kw’abakozi baakyo basatu.

Burnhan yalangiridde nti okudda ku bbeere lya nnyina, takyayinza kuddamu kutuula na Mohamed Hamdan Dagalo naye eyasuubizza nti okuteesa amala kukakasa ng’amagye gakomye okubakolako obulumbaganyi ku nfo zaabwe.

Mu kibuga Khartoum, emmundu tennasiriikirira ng’amagye ga Gavumenti gagezaako okulwanyisa eggye eryewagguzi abeekwese mu mayumba g’abantu baabulijjo.
Amawanga agenjawulo gakyagenda mu maaso oluvannyuma lw’okukizuula nti embeera eyinza obutadda mangu mu nteeko.

Mu kiseera kye kimu ekibiina ky’amawanga amagatte kisindise abakungu baakyo e Sudan bakakkanye bagenero abagaanye okussa wansi ebyokulwanyisa nga bwe bazze basabibwa. Omwogezi w’ekibiina ky’amawanga magatte, Stephane Dujarric yagambye nti Ssaabawandiisi w’ekibiina Antonio Guterres yasindise abakungu abagenda okuyambako okuzza embeera mu nteeko.