OMUBAKA wa Uganda mu Sudan, Dr Yahaya Ssemuddu agumizza Bannayuganda abakyalemedde e South Sudan olutalo gye lukyayinda n'agamba nti Gavumenti emaliriza enteekateeka z'okubakomyawo.
Hajjati Minsa Kabanda yabaddeyo.
Ono agamba nti Bannayuganda 37 be babadde bakyakonkomalidde e Sudan olw’olutalo okulyayinda n'akubiriza Bannayuganda obuteetantala kuwagira wadde okuwakula olutalo lwonna kubanga lukosa nnyo.
Yayongeddeko nti mu kiseera kino ekibuga ekikulu ekya Sudan Khartoum mu bbanga ttono kyakubiddwa ne kisaanawo nga kijjakubatwalira ekiseera okuzikawo emirimu giddemu okutojjera
Ssemuddu agamba nti Bannayuganda bano okusigala baali balwawo okwewandiisa ate nga bangi baali tebalina bitambulizo ekibadde kibakaluubirira okutambula okugoba ku nfuluma yaabwe.
Yayongeddeko nti mu kiseera kino buli kumu kiwedde era wiiki eno Bannayuganda bonna bajja kuba baviiridde ekibambulira ky'olutalo e Sudan.
Ssentebe Salim Uhuru ng'atuuka ku mukolo.
Ono abadde mu maka ga Sheikh Sulaima Gggwa Lubega ku kyalo Kijabijjo mu diviizoni y’e Kira mu Kira Munisipaali ku mukolo gwe yeebaliza Allah okumuwa obumyuka bw'omubaka wa Uganda mu Saudi Arabia.
Omukolo gwetabiddwaako bannabyabufuzi n’abagenyi abalala okwabadde ne Pulezidenti eyakiikiriddwa Hajjati Lukiya Nakadama. Ono yasabye Abasiraamu okwegatta Pulezidenti ayongere okubawa ebifo mu Gavumenti.
Mu balala kwabaddeko minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda, Hajjati Sarah Kanyike kati ye muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala , Sheikh Obed Kamulegeya, Sheikh Mahad Kakooza ddayirekita wa Shalia , omuwanika wa NRM Babra Nekesa Owundo n'abalala bangi