Emmundu etokota e Khartoum;Abayeekera basse abantu 90 mu kibuga

EMMUNDU ezzeemu okutokota e Sudan, abakeeyera bwe balumbye ekibuga Khartoum ne batta abantu abasukka mu 90 n’okukuba ennyonyi ennwaanyi ey’amagye ga Gavumenti.

Abajaasi b’ekiwi ekimu ekirwana e Sudan nga balumba eddwaaniro.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EMMUNDU ezzeemu okutokota e Sudan, abakeeyera bwe balumbye ekibuga Khartoum ne batta abantu abasukka mu 90 n’okukuba ennyonyi ennwaanyi ey’amagye ga Gavumenti.
Abayeekera ab’ekibinda ekya Rapid Support Forces (RSF) ekiduumirwa Gen Hamdan Dagalo eyeewaggula baalumbye mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, baalumbye ebyalo ebisukka mu 15 ne batta abawera n’okuleka abasoba mu 200 nga balina ebisago era amagye g’ekibinja ekiri mu buyinza agaduumirwa Genero Abdel Fattah al-Burhan ne galabula okubaddiza omuliro.
Kinajjukirwa nti ku Ssande ewedde nga March 30, 2025 ekibinja kya RSF ekiduumirwa Genero Mohamed Hamdan Daglo kyalangirira nti kyali kiyimirizza ennumba ze kyali kikola mu kibuga ekikulu Khartoum, oluvannyuma lwa wiiki eziwera nga balwanagana era nga buli ludda lulinako ekitundu kye lweddiza.
Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekya United Nations (UN) olutalo luno olwatandika mu April wa 2023 kyalutuumye olukyasinze okuteeka abantu mu njala kakutiya n’okubasengula, ng’okuva lwe lwatandika abantu abasoba mu bukadde 12 be babundabunda nga n’enkumi n’enkumi zifudde.
ENSI YATEMWAMU EBITUNDU BIBIRI
N’okutuusa kati ensi ya Africa eno ekwata ekyokusatu mu bunene ekyagabanyiziddwaamu emirundi ebiri ng’amagye agali mu buyinza gafuga ebitundu by’omu Buvanjuba n’Obukiikakkono bwalyo ate aba RSF be bafuga ebitundu ebisinga eby’omu Darfur region mu Bugwanjuba bwa Sudan n’ebimu ku bitundu mu bukiikaddyo bwa Sudan.