'Okuboola abalina Sirimu kiremesa Gav't okumulwanyisa'

Abakugu mu kunoonyereza ku ndwadde ku yunivaasite e Makerere bennyamivu olw’okuboolebwa kw’abalwadde ba ssiriimu okweyongedde, ekiviiriddeko enteekateeka za gavumenti okumalawo ekirwadde kino mu ggwanga okutambula akasoobo.

Joy Wako, omubaka w'abakadde mu paalamenti ng'ayogera ku mukolo
By Jill Ainebyoona
Journalists @New Vision

Abakugu mu kunoonyereza ku ndwadde ku yunivaasite e Makerere bennyamivu olw’okuboolebwa kw’abalwadde ba ssiriimu okweyongedde, ekiviiriddeko enteekateeka za gavumenti okumalawo ekirwadde kino mu ggwanga okutambula akasoobo.

Bino bibadde mu kutongoza okunoonyereza okwakolebwa abakugu ku ttendekero lya yunivaasite eriyitibwa Makerere University School of Public Health, ng’omukolo gwayindidde ku Imperial Royale Hotel mu Kampala.

Dr. John Bosco Ddamulira, omukugu mu kulwanyisa endwadde ezirumba abantu era nga musomesa e Makerere yategeezezza nti abalwadde ba siriimu okuboolebwa mu bitundu gye bawangaalira kibaleetera okwetya, ekivaamu ne batandika okugaana okumira eddagala olw’okutya okuswala, nga bangi ku bano ekirwadde kibabala embiirizi okutuusa lwe bafa.

Abamu ku bakulembeze b'ebyobulamu ku disitulikiti abeetabye mu kwanjula ebizuuliddwa mu kunoonyereza. Asooka ku kkono ye Dr. John Bosco Ddamulira, wakati ye mubaka akiikirira abakadde, Joy Wako, Ate owookubiri ku ddyo ye Dr. John Bosco Matovu.

Abamu ku bakulembeze b'ebyobulamu ku disitulikiti abeetabye mu kwanjula ebizuuliddwa mu kunoonyereza. Asooka ku kkono ye Dr. John Bosco Ddamulira, wakati ye mubaka akiikirira abakadde, Joy Wako, Ate owookubiri ku ddyo ye Dr. John Bosco Matovu.

Ddamulira yagambye nti mu kunoonyereza kwe baakoze baakizudde nti abalwadde ba siriimu ebitundu 4.1% baboolebwa mu nkungaana ez’awamu n’abantu abalala, 1.8% ne baboolebwa mu makanisa, 4.5% ne baboolebwa mu mirimu egigatta famire, ebitundu 14.1 ku 100 ne basosolebwa n’okugeyengulwa aba famire mwe bava, kye yasabye kikendeezebwe, gavumenti esobole okutuuka ku kiruubirirwa k’okumalawo obulwadde buno mu ggwanga omwaka 2030 we gunaatuukira.

Dr. John Bosco Matovu, omu ku beetabye mu kunoonyereza yatenderezza enkola y’abantu okwekebera ssiriimu mu budde bwonna we baagalira nga baweebwa obukebera ku bwereere, kye yagambye nti kiyambyeko nnyo abantu okumanya wa we bayimiridde.

Kyokka Matovu yalaze okutya olw’ebintu eby’enjawulo enkola eno gy’etannaba kutuuka, n’asuubiza okukolagana ne gavumenti okulaba nga buli muntu akakebera kasobola okumutuukako mu ddwaliro erimuli okumpi.

Ate Joy Wako, omubaka wa paalamenti akiiririra abakadde yasabye abakugu okwongera okuteeka essira ku bakadde mu myaka, nga waliwo n’abasobezebwako abantu abakozesa ebiragalalagala ne babasiiga ssiriimu, kyokka olw’emyaka gyabwe ne basalawo okusirika nga batya okuswala, ekibaviirako okufa.

Dr. Diogo Nantamu, akulira abatwala ebyobulamu mu disitulikiti ez’enjawulo mu ggwanga yasabye gavumenti okusitula omutindo gw’amalwaliro, gasobole okutuusa empeereza ennungi eri abawangaala n’akawuka ka siriimu.

Kinajjukirwa nti ng’eggwanga lijjukirwa abalwadde ba siriimu nga 1 December 2023, kyategeezebwa nti abavubuka 70 buli lunaku bakwatibwa akawuka ka siriimu, ekiteeka eggwanga mu matigga.